GEN.Mugisha Muntu awakanyizza ebyavudde mu kulonda kyokka n'awera nti si wakudda mabega mu lutalo lw'aliko olw'okulwanirira enkyukakyuka.
Muntu nga y'omu ku baavuganyizza ku Ntebe y'omukulembeze w'e Ggwanga mu kalulu akaawanguddwa Pulezidenti Museveni asinzidde mu lukungaana lwa Bannamawulire lw'atuuzizza ku kitebe ky'ekibiina kye ekya ANT e Bukoto,agambye nti akalulu kaabaddemu Vvulugu mungi nnyo omwabadde okubba obululu,okutisatiisa abalonzi n'ebirala.
Wabula Muntu asabye ebibiina by'oludda oluvuganya gavumenti ebirina obujulizi obumala okuddukira mu Kkooti bawakanye ebyavudde mu kalulu ng'agamba gyo emivuyo gyabadde mingi.
Muntu ye agambye nti obudde buno amaanyi gonna bagenda kugamalira ku kuzimba ekibiina okulabanga beyongera okufuna abakulembeze ab'ensa nga wano yasiimye abantu ba Hoima City West Division olw'okulonda Ismail Kasozi n'ategeeza nti eyo ntandikwa nnene nnyo gyebali.
Kyokka Muntu asaasidde Bannabyabufuzi ab'amannya ku ludda oluvuganya gavumenti abaasuliddwa mu kalulu k'Ababaka ba Palamenti omwabadde; Omubaka wa Kira Municipality,Muhammad Muwanga Kivumbi ow'e Butambala,Mathias Mpuuga n'abalala kyokka n'abagumya obutaggwamu maanyi basigale nga balwanirira