OMUBAKA wa Busiro South mu Parliament Charles Matovu akakasizza okulwanira obuwanguzi bwe oluvanyuma lwa Kenan Opio owa NRM okulangirirwa ku kifo kino .
Charles Matovu omubaka okuva mu NUP yafuna obululu 26475 , Kenan Opio ayalangiridwa okuva mu NRM yafuna obululu 33812 kenan kyagamba nti obululu buno si butuufu .
Matovu asinzidde wano n'agamba nti akyayogerako ne bapuliida be okumuwa amagezi ku kiki kyebagenda okukola kubanga tayinza kusirika nga tavuddeeyo kubanja kalulu ka Busiro South wamu naka Robert Kyagulanyi Sentamu .
Ayongedeko nti alina DR forms zonna eziraga nti yawangula akalulu naye yewunya okuba nga balangiriramu omuntu mulala ate abamu ku bantu be abaali bakuuma akalulu ka NUP bawambibwa kwosa nokutwala emmotooka yaabwe ekika kya Harrier Number UBH 312 N . okutuusa kati telabwaako n'asaba abagitwaala ogikomyaawo kubanga telina musango