Amawulire

Katikkiro Mayiga avumiridde ettemu eryabadde e Butambala

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga yeekokkodde eby’obufuzi eby’okwewanisa abantu emitima nti, si birungi n’avumirira ebikolwa eby’okutta abantu nga tebatwaliddwa mu kkooti.

Katambala Hajji Sulaiman Magala (wakati) ng’ayaniriza Katikkiro Mayiga (ku kkono) e Kibibi mu kuziika nnyina.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga yeekokkodde eby’obufuzi eby’okwewanisa abantu emitima nti, si birungi n’avumirira ebikolwa eby’okutta abantu nga tebatwaliddwa mu kkooti.
Yanokoddeyo ettemu eryabadde e Butambala mu maka g’omubaka Muwanga Kivumbi abantu abagambibwa okuwera 10 gye battiddwa ab’ebyokwerinda nga kigambibwa nti, baabafukiridde amasasi nga bali munda mu nnyumba.
Bino Katikkiro Mayiga yabyogeredde ku mukolo gw’okuziika Madinah Nakasinde ng’ono y’abadde maama w’Omwami wa Kabaka atwala Essaza ly’e Butambala, Katambala Hajji Sulaiman Magala e Kibibi-Butambala.
“Minisita ayogedde ku bizibu ebyali eno mu kulonda, ebyo bye twagalira ddala okwewala. Eby’obufuzi eby’okweraliikirira si birungi,” Mayiga bwe yagambye.
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu mu Buganda Joseph Kawuki ye yabuulidde Katikkiro ku bantu abaafiira mu kulonda mu kitundu era n’asaba mu kulonda okunaddirira, ebintu bwebiti, byewalibwe.
Kati ng’ebyokulonda kw’ababaka ba Palamenti nga kumaliriziddwa e Butambala, Mayiga yagambye nti, kati kiseera kya kuzzaawo Oluganda wakati w’abantu b’ekitundu kino.
Supreme Mufti wa Uganda, Sheikh Mohammad Galabuzi yasabye abakyala okukomya omuze gw’okujoonyesa ba bbaabwe, wabula batwale eky’okulabirako kya Nakasinde afumbye emyaka egisukka 63 ng’akolagana bulungi ne bba.
Sheikh Galabuzi yeebazizza Hajji Magala olw’obutakoma kufaayo ku mirimu gy’Obwakabaka wabula n’egy’Obusiraamu mingi agikola.
Minisita Kawuki yasaasidde Katambala Magala ne baana banne olw’okufiirwa kuno n’amwebaza olw’okugunjula obulungi abaana abaweereza Kabaka.