ABANTU babiri , bafiiridde mu muliro ogukutte enyumba y'embaawo e Kawempe mu Kampala
Enjega ebadde mu zooni ya Kikaaya mu Ggombolola y'e Kawempe mu Kampala , bwe kugutte ennyumba ya Edgar mu kiro ekikeesezza leero, ne gwokya Monica Kobusingye 21 n'omulala ategeerekese nga Mulokole , bombi ne bafa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, ategeezezza nti abazinyamooto webatuukidde, ng'abalala ababaddemu babuuseemu ne bagwa ebweru ne bawona, kyokka ababiri nga basiridde