Johnson Muyanja ssenyonga awangudde ekyobwa ssentebe wa disutulikiti ye Mukono.
Afunye obululu 51686 NUP ate Lukooya mukoome munnakibiina kya NRM afunye obululu 50254, Lauben ssenyonjo n'afuna obululu 2995.
Mukoome ng'ali n'abasirikale oluvannyuma lw'okuwangulwa
Bannakibiina kya NRM tebakkaanyizza na bivudde mu kalulu Kano era ssentebe w'ekibiina kino Harunah Ssemakula akyali mu kafubo n'akulira ebyokulonda Emily Amongin akatwalidde ddala obudde obuwera. Bananakibiina kya NUP emitima gibeewanise tebamanyi kigenda kuva mu kafubo ako