Akulira eby'okulonda mu disitulikiti e Wakiso Tolbert Musinguzi alangiridde Eng Ian Kyeyune owa NRM ku mudumu gw'emmundu n'obukuumi obw'amaanyi oluvannyuma lwa Nasiif Najja owa NUP okwekandagga ng'awakanya obuwanguzi bwa Kyeyune.

Najja Nasiif abadde ku Card ya NUP nga yecanga okuwakanya obuwanguzi bwa Ian Kyeyune
Kyeyune yafunye obululu 177710 ate Najja n'afuna 99245 ye Flavia Nakafeero owa DF nafuna 10587.
Kyokka Musinguzi ng'ayise Kyeyune okumulangirira, Najja yabase omuzindaalo ng'awakanya ekya Musinguzi okulangirira Kyeyune era okukkakkana ng'amagye gamuwaludde okumufulumya ekisenge omwabadde mugattibwa obululu.

Najja Nasiif bamuyuzizza empale ng'alwanira obuwanguzi bwe
Kyokka era wabaddewo enkalu mukiro nga Josephine Nammanda owa NUP awakanya ebyalangiriddwa Musinguzi nti Juliet Namataka owa NRM yeyawangudde.
Baabadde bavuganya kukifo kya kkansala omukyala akikirira Wakiso Town Council ku disitulikiti.

Najja Nafiif nga bamufulumya ekizimbe awabadde okugatta obululu
Kino era kyabadde neku kya kkansala omwami akikirira Wakiso Town Council ku disitulikiti, Edward Ssentalo owa NRM bweyalangiriddwa wadde ng'ebyabaddewo byabadde biraga nti Charles Mpanga owa NUP yawangudde