Amawulire

Abaaganyulwa mu Youth Wealth Creation nabo bayozayozezza pulezidenti Museveni olw’okuwangula

Abaaganyulwa mu Youth Wealth Creation nabo bayozayozezza pulezidenti Museveni olw’okuwangula

Faisal Ndase akulira State House Youth wealth Creation
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

Abaaganyulwa mu Youth Wealth Creation nabo bayozayozezza pulezidenti Museveni olw’okuwangula.
ABAKOLA emirimu gya wansi okuva mu munisipaali ettaano ezikola Kampala okuli; Lubaga, Nakawa, Kawempe, Makindye ne Central, abaajunibwa State House mu okuyita mu nteekayeeka ya Youth Wealth Creation, nga bakulembeddwamu agikulira Faisal Ndase bayozaayozezza Pulezidenti Museveni olw’okuddamu okuwangula okulembera Uganda ne bategeeza nti bamulinamu esuubi ddene.

Faisal Ndase ng'annyonnyola

Faisal Ndase ng'annyonnyola


Bano ababadde baneekanekanye mu mijoozi gya langi y’ebiina kya NRM eya kyenvu, bakunganidde Nakulabye ku Vox Lounge, nebalaga essannyu ku lw’omwagalwa wabwe okuwangulira waggulu akalulu.
Abantu bano okuli abasiika chapati,eb’ebyalaani , abasiika chipusi n’abalala amaka g’obwapulezidenti nga gayita mu agavunaanyizibwako Jane Barekye bazze babadduukirira ng’okuva mu mwaka gwa 2022, abantu abasoba mu 700 be babadde baakayambibwa. 
Ndase bano ab’ebazizza okuyimirira wamu ne NRM bwe bavaayo ne bayiira pulezidenti Museveni akalulu wamu ne bannakibiina abalala era naye naayozayoza pulezidenti olw’okutuuka ku buwanguzi.

Faisal Ndase ng'annyonnyola

Faisal Ndase ng'annyonnyola


Abagumizza nti kye baakola bwe baamalirira okulonda pulezidenti Museveni bagenda kuganyulwa bya nsuso era kati kyebalina okukola kwekolamu SACCO ye pulezidenti mwagenda okuyibateera ssente beekulakulanya.
Suzan Kansiime, omu ku baaganyulwa agamba nti asinga kwebaaza Faisal Ndase ne Jane Barekye olw’okutambuza obulungi pulogulamu ya Youth Wealth Creation kubanga nayo yakola kinene okumatiza emitima gy’abantu nti ddala pulezidenti Museveni yaasobola