MUWALA g’omugenzi Mabirizi owa Mabirizi Complex yeeyan-judde mu minisitule ey’ensonga ez’ebweru nga omubaka wa Grenada mu Uganda.
Grenada kizinga ekiri wakati wa America ne Venezuela Samalie Nambooze 35, yatutte empapula ze mu butongole eri minisita w’ensonga ez’ebweru, Henry Oryem.Nambooze yagambye nti, Uganda yaakufuna mu nkolagana n’eggwanga lya Grenada erimany-iddwa ennyo mu byobulambuzi. “Grenada, abantu baayo bad-dugavu, boogera Lungereza nga kino kyakwanguyiza bannayu-ganda okugendayo basomereyo, basuubule n’okulambula nga tebakaluubiriziddwa lulimi wadde okusosolwa mu langi,” Nambooze bwe yategeezezza.
Ng’agenda okweyanjula, yawerekeddwaako kitaawe omuto, Dick Kizito owa Kizito Towers, omubaka wa Bufumbira East omulonde ate nga ye bba, mukulu we, Stuart Mabirizi, omugagga King Ceasor Mulenga, n’abalala. Omugagga Dick Kizito ya-gambye nti Uganda nga bw’eri nayo nnyo mu byobulambuzi, abagagga bannannyini wooteeri bagenda kukozesa omukisa guno okugendayo bayige bye balina okwongera mu wooteeri zaabwe zituukane n’omutindo gw’ensi yonna.Mwannyina, Stuart Mabi-rizi yagambye nti Nambooze agenda kubeera kyakulabirako eri abakyala n’abawala abakyali, obuteenyooma kubanga omusajja ky’asobola n’omukazi akisobola.
Ye nnonga lwaki Grenada yamu-taddemu obwesiige ku myaka 35, gyokka gy’alina.Nambooze yasomera Kampala Parents P/S, Seeta High School, ne Nabisunsa gye yatuulira S6 ne yeegatta ku yunivasite ya MUBS e Nakawa gye yasomera diguli ya mu kugulira amakampuni ebintu (Procurement).