MUTABANI wa Gaddafi gwe yali ateeseteese okumuddira mu bigere ng’afudde, naye bamusse bubi nga kitaawe.
Saif al-Islam Gaddafi eyamanyika ennyo mu 2011 ng’eggye ly’amagye g’omukago gwa NATO lirumbye Libya bwe yayogeranga ennyo ng’avumirira Abazungu, yattiddwa mu bukambwe.
Saif yali yateekebwateekebwa kitaawe, Col. Muammar al Gaddafi eyali Pulezidenti wa Libya amuddire mu bigere anyweze ‘ekintu’ kyokka bwe baamutta, n’entaana ye ne bagiseeteereza mu ddungu obutamanyikako mayitire, mutabaniwe yasigala n’essuubi okutuula mu ntebe ye.
Wabula ekirooto kye ne kitaawe eggulo kyaziikiddwa obutaddamu kulowoozebwako mu bulamu bwa bannansi ba Libya, abatemu bwe baamulumbye mu maka ge ne bamusindirira amasasi agaamuggye mu budde.
Saif ow’emyaka 53, yabikiddwa munnamateeka we, Khaled al-Zaidi n’omuyambi we ku nsonga z’ebyobufuzi Abdulla Othman. Othman yategeezezza amawulire ga Fawasel Media nti, abasajja bana abaabadde bambadde obukookolo, baalumbye Saif mu maka ge agasangibwa mu kibuga Zintan ekyesudde kiromita 136 (mailo 85) mu maserengeta g’ekibuga ekikulu Tripoli.
Baasoose kubikka kkamera zonna eziri ku nnyumba, waleme kubaawo ategeera ntambula zaabwe. Saif yali atwalibwa nga nnamba bbiri mu Gavumenti ya kitaawe.
Oluvannyuma lw’okuwamba Gaddafi, Saif baamukwatira e Zintan mu 2011 bwe yali agezaako okufuluma eggwanga ng’addukira ku muliraano e Niger. Yasibwa mu kkomera okutuusa mu 2017, lwe yafuna ekisonyiwo kya Gavumenti era okuva olwo abadde abeera Zintan.
Y’abadde omwana owookubiri owa Gadaffi nga yasoma byanfuna e London mu Bungereza era nga mu kusooka, yali amanyiddwa ng’omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu. Yagezaako okutereeza enkolagana ya Libya n’amawanga ga Bulaaya mu myaka gya 2000 era yakulemberamu enteeseganya ezaavaako eggwanga lye okwesonyiwa okuweesa ebyokulwanyisa eby’amaanyi ga nukiriya.
Obuganzi bwe mu bantu bweyongera bwe yakulemberamu enteeseganya z’okuliyirira ffamire z’abantu 259 abattibwa mu nnyonyi ekika kya Boeing 747, Pan Am Flight 103 bwe yakubwa bbomu e Scotland abaagirimu ne bafa mu 1988.
Okunoonyereza okwakolebwa ebitongole eby’enjawulo, kwazuula ng’omukessi wa Gavumenti ya Libya, Abdelbaset al-Megrahi ye yaluka olukwe lwonna. Gadaffi yamuwaayo n’awozesebwa mu Kkooti y’Ensi Yonna e Netherlands ne gumusinga. Wadde Gadaffi yasigala agamba nga bw’atalina ky’amanyi ku bulumbaganyi buno, yaliyirira ffamire z’abaafiirwa abantu baabwe ssente ezisukka akawumbi ka ddoola za Amerika kuba eyali akoze ettemu yali mukozi wa Gavumenti ye.
Kyokka olutalo olwatwala Gadaffi mu 2011 bwe lwatandika, Saif yamulwanirira n’awera okutta yenna aneegeza mu ntebe ya kitaawe. Ekibiina ky’amawanga amagatte kyali kyamuwera okugenda mu mawanga amalala. Ne Kkooti Y’ensi Yonna eya ICC yali yamuteekako ekibaluwa kibakuntumye olw’emisango gye yazza mu 2011 omwali n’okutugumbula abeekalakaasi.
Yayimbula mu 2017 n’asigala e Zintan era mu November wa 2021, yalangirira bw’agenda okwesimbawo ku Bwapulezidenti, ekintu ekyavumirirwa abaali baakyawa kitaawe naddala amawanga ga Bulaaya. Akakiiko k’ebyokulonda kaamusazaamu nga bagamba nti engeri gye yasingisibwa omusango mu 2015 yali takyakkirizibwa kwesimbawo. Bwe yeekubira enduulu mu Kkooti Enkulu ng’akiwakanya, abeekalakaasi baasalako kkooti. Okulonda kwasazibwamu ne basalawo nti Libya bw’eriddamu okufuna emirembe, baliddamu okulonda.
Abaana ba bannakyemalira be baali bateeseteese okubasikira
Maslah Mohamed Siad Barre: Yali mutabani wa Mohamed Siad Barre eyafuga Somalia n’omukono ogw’ekyuma wakati wa October 21, 1969 okutuuka January 26, 1991. Kitaawe yatandika okumuteekateeka okufuga Somalia ng’akyali muvubuka.
Yamuyingiza amagye n’amukuza ku sipiidi okutuuka ku ddaala erisembayo erya Genero n’amugonnomolako agafo gonna ag’enkizo. Mu 1989 yalondebwa okuduumira amagye ga Somali. Eby’embi, Mohammed Siad Barre yamaamulwa mu buyinza mu 1991 n’addukira mu buwang’anguse mu mawanga ag’enjawulo era yafiira mu Nigeria mu 1996.
Omutabani yeekwanyakwanya mpola n’agenda e Kenya gye yamala akaseera. Oluvannyuma yaddayo mu Somalia ne yeesogga ebyobufuzi era yeesimbawo ku Bwapulezidenti mu 2009 n’awangulwa Sharif Sheikh Ahmed. Yafa mu 2020 ng’ekirooto kya kitaawe kigudde butaka.
2 Uday Hussein ne Qusay Hussein: Baali batabani ba Saddam Hussein owa Iraq be yateekateeka kuveeko omu amuddire mu bigere. Olutalo olwa March 2003 olwaggyako kitaabwe, batabani be mwe baabattira mu bukambwe nga July 22, 2003. Ne kitaabwe teyabaziika kuba yali mu kinnya nga yeekukumye. Saddam mu kinnya mwe yali yeekukumye, amagye ga Amerika gaamukukunumu mu December 2003 n’awozesebwa mu kkooti ey’ekimpatiira emisango gy’obutemu ne gimukka mu vvi ne bamuwanika ku kalabba ku lunaku lwa Iddi nga December 30, 2026.
3 Alaa Mubarak ne Gamal Mubarak: Batabani ba Hosni Mubarak owa Misiri. Gamal bamulaga ku mukutu gwa Wikipedia nga bwe yali ateekeddwateekeddwa okudda mu ntebe nga kitaawe agivuddemu. Wabula, byajja bubi mu 2011, Mubarak bwe yaggyibwa mu ntebe mu mweyubulo ogwaleetebwa mu ggwanga eryo. Batabani be
bombi baasibwa nga kigambibwa nti beenyigira mu bulyake.
4 Vasili Stalin ne Svetlana Stalin
Baali batabani ba Joseph Stalin eyakulembera omukago gwa Soviet Union (Russia), okuva 1924 okutuuka 1953 lwe yafa. Abaana baabulwa ekkubo we bayita okutuula mu ntebe ne bawang’anguka.
5 Sar Patchata: Yali muwala wa Pol Pot eyafuga Cambodia n’amaanyi. Kitaawe yamuteekateeka okumuddira mu bigere kyokka byagaana ne yeesogga obulimi, okusinziira ku mukutu wa Wikipedia.
6 Jaffar Amin: Yali mutabani wa Idi Amin Dada gwe yali asinga okwagala mu baana be. Yamuteekateeka mu bintu bingi ebifuula omuntu omukulembeze ng’amanyi nti bw’ava mu ntebe, mutabani y’agiddamu. Amin bwe yatwalibwa kiyumbanaagwa mu 1979, yasikizibwa Yusuf Kironde Lule