Amawulire

Abawangudde obwa ssentebe bw'amagombola e Wakiso

AKULIRA eby'okulonda mu disitulikiti ye Wakiso Tolbert Musinguzi alangiridde munnakibiina NRM Samuel Ssali kubwa ssentebe w’eggombolola ye Kakiri mu kulonda kwa ba ssentebe okwabaddewo ku Lwokusatu.

Musinguzi ng'alangirira Bagala eyawangudde ekya Kakiri Town Council
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision

AKULIRA eby'okulonda mu disitulikiti ye Wakiso Tolbert Musinguzi alangiridde munnakibiina NRM Samuel Ssali kubwa ssentebe w’eggombolola ye Kakiri mu kulonda kwa ba ssentebe okwabaddewo ku Lwokusatu.

Musinguzi ng'alangirira Bagala eyawangudde ekya Kakiri Town Council

Musinguzi ng'alangirira Bagala eyawangudde ekya Kakiri Town Council

Ssali yawangudde ku bululu 3719 ate Richard Kamya owa NUP nafuna obululu 2397. Ye Saaziri Ssebuufu owa NUP yalangiriddwa kubuwanguzi ku kifo kya ssentebe wa Namayumba Town Council nga yawangudde ku bululu 1769 ate Lozio Kyagulanyi owa NRM nafuna 1587.
Mu Masuliita Sub County, Moses Seggumba owa NRM yawangudde ku bululu 1983 ate Andrew Ssempiira owa NUP nafuna 1541, ate nga Godfrey Mukisa owa NRM yawangudde ekya ssentebe wa Masuliita Town Council ku bululu 2039 ate Abdul Muwanga owa NUP nafuna obululu 964.
Mu kakiri Town council Moses Bagala munakibiina kya NRM yalangiriddwa ku buwanguzi n'obululu 944 ate Moses Bisaso owa NUP nafuna obululu 771.

Joseph Muzenze owa NRM yawangudde ekya ssentebe wa Namayumba Sub County

Joseph Muzenze owa NRM yawangudde ekya ssentebe wa Namayumba Sub County

Moses Mutebi owa NUP yawangudde ekya kkansala wa Kyanuuna ward ku lukiiko lwa town council bweyawangudde n’obululu 519 ate John Bugembe owa NRM nafuna 356. Ku kifo kya kkansala akikirira Luguzi ward ku lukiiko lwa Namayumba Town Council, George William Kasule yafunye obululu 638 ate Malachi Seguya nafuna obululu 431.
Musinguzi yategezezza nti okulangirira kwasikattiddemu olwa yintaneeti okusoobamu ekyamutwalidde akabanga okulangirira ebyavudde mu kulonda mu ggombolola 27 ezikola Wakiso