Makanika ow'emyaka 18 abadde ali wansi wa loole ng'agikanika e Luweero, emulinnye n'emubetenta omutwe n'afiirawo.
Akabenje, kabadde ku ssundiro ly'amafuta erya Stabex e Luweero ku luguudo oludda e Kiwoko.
Afudde, ye Raymond Lukyamuzi 18, ng'abadde mutuuze w'e Kalongo - Miti era ng'akanikira mu galagi ya Musooba.
Kigambibwa nti loole eno etambuza emmotoka endala, ebadde eri mu kifo ekyo, nga bamakanika bagezaako okugitereeza.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Twiineamazima, agambye nti ddereeva abadde agezaako okugizza mu kifo ekirala nti kwe kudda emabega n'alinnya makanika abadde wansi n'afa.
Agasseeko nti ddereeva adduse era nga mu kiseera kino, bamuyigga ng'omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Luweero, okubuuliriza kugenda mu maaso.