Amawulire

State House edduukiridde abantu abaafiiriddwa ebintu mu muliro e Kamwokya

Avunanyizibwa ku by'ensimbi mu maka g'obwa Pulezident Jane Barekye, awaddeyo obuyambi bwa ssente eri abatuuze 12 e Kamwokya mu Kisenyi II, abaagyiridwaako ebyabwe mu muliro ogwakutte bizinensi n’amaka gaabwe mu kiro eky’akeesezza leeroEnsimbi obukadde 10, zezibaweereddwa. Barekye zino azitisse Faisal Ndase, Youth Wealth Creation Programm (YWCP) ng’ono azikwasizza abakoseddwa. 

Faisal Ndase ng'akwasa abantu ssente
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

Avunanyizibwa ku by'ensimbi mu maka g'obwa Pulezident Jane Barekye, awaddeyo obuyambi bwa ssente eri abatuuze 12 e Kamwokya mu Kisenyi II, abaagyiridwaako ebyabwe mu muliro ogwakutte bizinensi n’amaka gaabwe mu kiro eky’akeesezza leero
Ensimbi obukadde 10, zezibaweereddwa. Barekye zino azitisse Faisal Ndase, Youth Wealth Creation Programm (YWCP) ng’ono azikwasizza abakoseddwa. 

Abaafiiriddwa ebintu mu muliro nga bakwasiddwa ssente okuva mu State House

Abaafiiriddwa ebintu mu muliro nga bakwasiddwa ssente okuva mu State House

Ndase atuseeko mu kifo awabadde enjega eno n’asisinkana abaakoseddwa, okuli n’abamu abaaganyurwa mu Youth Wealth Creation programme. Nga ku bano kuliko abasasaluuni, abasiika emberenge n’abakola chapati era ebintu byabwe byonna byagendedde mu muliro guno.
 Omuliro ogutanaba kutegeerekeka kwegwavudde, gwaliwo ku Lwokubiri ku ssaawa 8:00 ez’ekiro ne gw’onoona ebintu ebiri mu bukadde.
Ndase anakuwalidde wamu n’abaafiriddwa, n’alambulula nti abamu ku bano beebo ababadde baafuna mu pulogulamu ya Youth Wealth Creation, eyatandikibwawo okusitula abantu abakola emirimu gya wansi okulaba nga beesitula
‘Goolo ya pulogulamu Youth Wealth Creation, kukakasa ng’abantu ba wansi bakyusa embeera zaabwe mu byenfuna.Bwebaba ng’ate be bamu kubakoseddwa buba buvunaanyizibwa bwaffe okuyimirira nabo okudamu okusituka.

Wano ng'alaga ebintu ebyajjiiridde mu muliro

Wano ng'alaga ebintu ebyajjiiridde mu muliro

Ye nsonga lwaki madam Barekye antumye okulaba nga ntuusa obukadde buno 10 buyambeko abaakoseddwa’ Ndase bweyagambye.
Christine Nakayenga, yakoseddwa, asiimye pulezidenti Museveni olw’okulonda Barekye ate naye n’abasindiikira Ndase abatusaako obuyambi nga bwebumutikibwa mu bujjuvu.
Ssentebe wa LC1, Robert Odongokara Ameku, agambye nti baagezaako okuzikiza omuliro era ne poliisi ne tuuka mu budde ekyabataasa obutasasaana wanene nnyo. Agambye nti ekyavaako omuliro tebanakimanya kyokka n’asiima olw’obuyambi.