Amawulire

Kabaka asiimye abadde omumyuka wa Ssaabalangira Fred Kateregga okugira ng'akuuma entebe ya Ssaabalangira

SSAABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye abadde Omumyuka wa Ssabalangira Fred Kateregga okugira ng'akuuma entebe y'Obwassabalangira. 

Omumyuka wa Ssabalangira Fred Kateregga (wakati) ng'atudde n'abamu ku bakulu b'emituba
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

SSAABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye abadde Omumyuka wa Ssabalangira Fred Kateregga okugira ng'akuuma entebe y'Obwassabalangira. 

Ekirangiriro kino akitisse Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akirangiridde ku mukolo gw'okutereka abadde Ssabalangira Godfrey Musanje Ngobe ku kyalo Kitegula mu ggombolola ye Kasawo e Kyaggwe. 

Katikkiro Mayiga era asinzidde wano n'alambulula ku buvo bw'obukulembeze bw'Obwakabaka mu kiseera kino omuli n'obuvunanyizibwa nga Ssabalangira. 

Minisita Omubeezi owa Tekinologiya mu gavumenti eyawakati, Joyce Nabbosa Ssebuggwawo atendereza Ssabalangira olw'omulimu omukulu gwakoledde eggwanga okuli okugunjula abaana bwatyo n'asaba abazadde okugunjula obulungi abaana baabwe ng'omugenzi bwakoze. 

Obubaka bw'Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka mu Buganda, Namwama Augustine Kizito Mutumba butuusiddwa Katikkiro w'ekika Kya Nakinsige, Noah Ssekirembe n'atendereza Ssabalangira Musanje olw'okubeera Omusaale mu kutumbula ennono za Buganda.

Ye Akolanga Ssabalangira Kateregga yeebazizza Kabaka olw'okubawa obuvunanyizibwa okumulamulirako Olulyo Olulangira era n'atendereza abadde Mukama we ng'ono abadde atambulizika naye emirimu, ng'emirundi mingi abadde amuwa obuvunanyizibwa obw'enjawulo.

Kateregga agambye nti mu mirimu gyebakoze kuliko okugatta Abalangira ate n'ebika saako n'obukulembeze bwa Kabaka e Mmengo.

Nnamwandu Margaret Nakimera yenna ng'amaziga gamuyitamu yeebazizza bonna ababaddewo mu bulamu bwa bba wamu naabo abatundize olugendo okujja okubeerawo mu kumuwerekera.

Omugenzi Musanje Ngobe yazaalibwa mu 1954 nga Bakadde be bebaali Yokaana Kikulwe  n'Omuzaana Norah Namutebi.

Akoze obuwereeza obuwerako okuli okubeera Kansala w'eggombolola ye Kasawo e Mukono okumala emyaka 15, Okumala emyaka 10 yeyali Ssentebe w'akakiiko k'ebyobulamu mu disitulikiti ye Mukono. Yali Ssentebe w'akakiiko akufuzi aka Kabimbiri RC.

Yafumbiriganwa ne Nakimera nga 2/6/1973 era babadde bawezezza emyaka 53 mu bufumbo Omutukuvu.

Yakolako mu ddwaliro e Mulago ng'omusawo ate oluvanyuma n'atandika eddwaliro e Kasawo gyaakoze omulimu ogw'ettendo ng'ajjanjaba bannansi.
Omukolo gwetabiddwako Baminisita  ba Kabaka bangi, abaami ku mitendera eby'enjawulo, Bannaddiini, abakulembeze mu disitulikiti ye Mukono n'abalala bangi