Amawulire

Mmotoka ya takisi ekika kya Drone egambibwa okuba ng'erudde ng'etambuliramu ababbi ne banyaga abantu, bagikwatidde e Masaka.

By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Mmotoka ya takisi ekika kya Drone egambibwa okuba ng'erudde ng'etambuliramu ababbi ne banyaga abantu, bagikwatidde e Masaka. 

E mmotoka eno nnamba UBL 572K poliisi n'ebitongole ebikuumaddembe, baludde nga bagiyigga okutuusa lwe bagikwatidde e Masaka n'ekomezebwawo ku poliisi e Nateete ng'okubuuliriza kugenda mu maaso. 

Ensonda mu poliisi zitegeezezza nti, abagitambuliramu baludde nga bagenda babba abantu oluusi n'okubatusaako obuvune ne babasuula ku makubo. 

Olusembyeyo, kigambibwa nti bafumbikirizza omukyala eyabadde avuga emmotoka, ne bamusikambulamu ku Northern by pass nga bamulimba nti yabadde akoonye omuntu n'amuttira e Namungoona, naye ng'ekigendererwa, kyabadde kyakumubba n'okumubbako emmotoka