Omugenzi Faaza Emmanuel Mukasa Kawemba, ng’ono y’abadde amyuka ssenkulu wa Seminario y’e Nyenga, eyafa ku Lw’okusooka lwa wiiki eno, y’aziikiddwa mu limbo y’Abasaserdooti b’essaza ekkulu ery’e Kampala, ku Seminario e Kisubi, ku Lwokusatu nga February 4.
ArchBishop ng'asabira Faaza Emmanuel Mukasa Kawemba
Missa ey’okusiibula omugenzi y’akulembeddwa Ssabasumba Paulp Ssemogerere, ey’asiimye ennyo omugenzi olw’obwagazi n’obumalirivu bw’abadde alina mu buweerezaabwe nga Omusaserdooti, omusomesa, era omugunjuzi w’Abaseminario.
“Fr. Mukasa tumwebaza olw’okwagala ennyo Obusaserdooti bwe, ate n’okukuuma ekitiibwa kyabwo. Aweerezza ng’omusomesa era omugunjuzi w’Abaseminario e Nyenga okumala emyaka 27. Emirimo gye ajikoze bulungi era ffe ab’essaza ekkulu ery’e Kampala gy’asibuka, atuukiikiridde bulungi era n’atuweesa ekitiibwa olw’engeri gy’akoze obulungi Obuminsane bwe. Tumutendereza nnyo n’obuweereza obulala obulungi bw’abadde akola, omuli okuwa ensirika, n’okulambika emikolo,” Ssemogerere bweyategeezezza.

Oksabira omwoyo gw'omugenzi Faaza Emmanuel
Ssenkulu wa Seminario y’e Nyenga, Fr. Eugene Safari y’ategeezezza nti Faaza Mukasa Kawemba abadde ayagala nnyo okukola, ngateyeebalira nebwabeera nga mulwadde, era ng’olumu baawalirizibwa n’okuyita Viika Genero Msgr. Dr. Richard Kayondo amukomeko, emirimo ejimu agyite. Y’amutedeerezza olw’obukozi bwe, n’obwesigwa obutasangika bw’abadde alaga bw’abadde akungaanya n’okukuuma ensimbi za Seminario. Y’amwebazizza n’okusomesa obulungi Abaseminario Olulattini (olulimi lwa Kleza).
Mwannyina w’omugenzi Rev. Sr. Tarsis Nammombwe, eyayogedde kulwa famire, y’ategeezezza nti Fr. Mukasa y’abadde Omusika wa Kitaabwe, era abadde abaagala nnyo, ng’abakumaakuma, era mgabasanyusa. Y’ategeezezza nti abadde ayagala ennyo Seminario y’e Nyenga gy’abadde akolera, era nga olumu bw’aba akyaddeko eka, babadde bamwegayirira asule waakiri ekiro kimu, kyokka nga takkiriza ngabateegeeza nti alina okuddayo e Nyenag, akole emirimo gye.

Okusabira omwoyo gwa Faaza Emmanuel
Faaza Emmanuel Mukasa Kawemba Musisi Kiwewesi Kyaterekera y’azaalibwa December 13, 1966, e Jjanya, Mawokota. Bazadde be bebagenzi John Mukasa ne Anna Nankanja.
Y’asomera Mannyogaseka Primary School (Mpigi district), St. Joseph’s Primary School Nabbingo, Nyenga Minor Seminary, Katigondo Grand National Major Seminary ne St. Paul’s National Seminary Kinyamasika.
Obusaserdooti bwamuweebwa Omutiibwa Emmanuel Cardinal Wamala nga August 9, 1997. Y’akolako nga omubeezi wa Bwanamukulu e Kiziba, okumala omwaka gumu, ate n’alondebwa okusomesa mu Seminario e Nyenga gy’aamze emyaka 27.