Imaamu w'omuzikiti gw'e Namataba Mukono attiddwa abatemu abatannamanyika bwe bamukubye peeva ku mutwe ng'adda ewuwe.
Haji Hassan Katabarwa 92 omutuuze w'e Kyawanvubu mu Namataba town Council e Mukono, gwe bakubye mu Kiro ekikeesezza leero n'afiira mu ddwaaliro e Kawolo.
Kigambibwa nti ettemu, lyaliba nga livudde ku nkaayana za ttaka mu family era ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago okwongera okugwekebejja...