Amawulire

Amaka ga nkuba kyeyo gatabudde abafumbo

Abatuuze bakung’anye okuwulira ensonga z’omukazi nkuba kyeyo agugulana ne bba eyava ku kyeyo oluvanyuma lw’emyaka ena n’asanga nga bba awasirizza omugole mu makaage.

Pennina Mudondo ne Kizito nga bali mu lukiiko
By: Saul Wokulira, Journalists @New Vision

Abatuuze bakung’anye okuwulira ensonga z’omukazi nkuba kyeyo agugulana ne bba eyava ku kyeyo oluvanyuma lw’emyaka ena n’asanga nga bba awasirizza omugole mu makaage.

Omukazi agamba nti omusajja yasibye ebintu by’omu n’obuliri n’abitwalira omugole, okumuliisa emmer ennuma ate kuno omusajja agattako okuyimba obuyimba obulumya mukyala mukulu.

Collins Kafero ng'ayogera mu lukiiko lweyatuuzizza e Kisoga

Collins Kafero ng'ayogera mu lukiiko lweyatuuzizza e Kisoga

Penninah Mudondo yatabuka bweyasanga nga enyumba gyebazimbye mu zimu ku ssente ezaamutuuyanya ku kyeyo e Buwalabu nga bba Kizito Fred agiwasirizzaamu omukazi omulala nga ali lubuto.

Mudondo agamba nti bba Kizito yeymusindika ku kyeyo akole balongoose enyumba, bagule ekibanja mwebalira n’okukola ebintu ebirala ebibakulakulanya wabula omusajja yasalawo kuwasa mukazi omulala, ekintu Mudondo ky’agamba nti kya bujoozi omukazi omulala okweyagalira mu ntuuyo ze.

Ensonga zino Mudondo yasooka kuziroopa mu ofiisi ya Collins Kafeero atwala amaka, abaana n’eddembe ly’obuntu e Kayunga era yayita Kizito n’amutuuza ne mukazi we Mudondo gw’alinamu abaana basatu era n’amulagira aggye omugole we mu maka ga Mudondo.

Kafeero yagenze mu maka g’abafumbo bano ku kyalo Kisoga mu ggombolola y’e Nazigo mu disitulikiti y’e Kayunga, okulondoola ku ebiragiro byeyawa n’atuuza olukiiko olwetabiddwamu abatuuze n’abakulembeze b’ekyalo.

Kati mu bisinga okuluma Mudondo kye ky’okuba nti Kizito bweyabadde asengula omugole okumutwala mu muzigo, yasibye ebintu by’omu nju n’obuliri n’abutwala era kati Mudondo asula wansi.

Ku nsonga y’okutwala obuliri Kizito agambye nti obuliri yabututte kubanga mukyala Mudondo yalaga nti tabwetaaga kubanga omugole kw’abadde asula wabula yaguze omufaliso nga kati apakasa ssente endala agule ekitanda.

Collins Kafeero akikkaatirizza nti nti obufumbo kwagalana era n’ajjukiza abakazi abafumbo okufaayo okuwa ba bbaabwe emmere balye bakutte kubanga abasajja baagala nnyo okulya.

Kafeero agambye nti amaka gabeera ga mwami n’omukyala era nti buli omusajja lw’awasa omusajja omulala ateekeddwa okumuteekerawo amaka agage era n’afuba okulaba nti amaka gonna ateekayo eby’okulya n’ebyokukozesa.