POLIISI mu Kampala, ekyagenda mu maaso n'okukungaanya obujulizi okuva ku muvubuka eyakwatiddwa ku by'okutemula abantu ababiri e Lungujja.
Ettemu lino, lyabaddewo mu kiro ekyakeesezza Ssande ku Dave Hotel and suites mu zooni ya Mumbi e Lungujja mu Kampala, abatemu bwe basse manegya w'ekifo ekyo n'omukuumi.
Abattiddwa ye Shivan Asasira 30 ne Lowrence Musinguzi 27 era oluvannyuma, omubbi n'abulawo n'emmotoka ekika kya Harrier nnamba UBH 633 M.
Eggulo, poliisi e Nateete ng'eri wamu n'amagye, baakutte Allan Sempala agambibwa okutemula abantu bano era nga kigambibwa n'emmotoka baamusanze nayo .
Poliisi etegeezezza nti baliko ebizibiti ebiwerako bye bamusanze nabyo era nga bakyagenda mu maaso n'okukungaanya abujulizi , okusobola okusimba Sempala mu kkooti, avunaanibwe ogw'obutemu.