EKIBIIINA ekigatta abantu abatemwako amagulu nébitundu byómubiri ebirala oluvanyuma lw'okufuna obubenje Amputee Selef Network Uganda kisabye poliisi okuddamu okukwasisa amateeka gókuguudo nókuweesa engassi eyakaggwirawo kiyambe mu kukola kubagoba bebidduka okuvugisa ekimama.
Ssentebe wékibiina kino Charlotte Kangume yagambye nti ekijja okuyamba okugendeeza obubenje ku nguudo ye poliisi okuddamu kukwesa engassi eyakagirawo ye Express Penalty Scheme (EPS) eri abagoba bébidduka kiyambe mu kunendeeza obubenje obuviriddeko abantu bangi okutemwako amagulu na bamu okufiirwa obulamu bwabwe.
Yagambye nti mu January 2018 yatomerwa mmotoka ekyamuvirako okutemwako okugulu olwokuba omugoba wa motoka yai avugisa ekimama nga kino kyakosa nnyo obulamu bwe nókudda emabebga nga mmotoka eyamutomera yamusanga ku babbali wóluguudo.

Omukyala ng'annyonnyola
Yategeezezza nti mu kiseera kino abayizi bagenda kudda ku masomero wabula nga abagoba bébidduka abamu bagenda kuvugisa ekimama ekijja okuvaamu okubatomera nafiirwe obulamu bwabwe n'abamu batebweko amagulu nga kiyinza okubakomako yékola eyakusasuzibwa engasi eyóbuliwo kuba ejjakusobola okubatekamu empisa.
Yagambye nti mu mwaka 2025 abamu ku bayizi abafuna obubenje 15 ku bbo batemwako amagulu nga kino kyazza obulamu bwabwe emabega abamu ne batasobola kuddayo kusoma ate abalala nebakalubirizibwa.
Yagambye nti omuntu atemeddwako okugulu nga afunye akabenje afuna okusomooza okwamanyi nadala okufuna okugulu okuzungu kuba kwabuseere nga abagatunda batandukira ku 1,500,000/- ate nga kulina okumala emyaka 5 omuntu addemu okufuna okulala.
Omwogezi wékitongole kya poliisi ekivunanyizibwa ku bidduka Michael Kananura yategezezza nti entekateeka zókusasuza abagoba bébudduka engassi eyakagwirawo evunanyzibwako Minisitule yebyentambula nga yyebalina okuvaayo nókulambika kungeri gyenakwatibwamu.