AKULIRA ebyobulambuzi ku kitebe kya Uganda mu Australia, Susan Tiisa Mugwanga atenderezza Gavumenti olw’okukuuma emirembe mu ggwanga n’okuteekawo embeera esobozesa abalambuzi ne bayinvesita okweyagalira kuno ekyongera okukulaakulana eggwanga.
Bino yabyogedde mu mwoleso gw’ebyobuwangwa n’ennono ogwategekeddwa mu Australia ku wiikendi, okulaga ebyobuwangwa by’abantu okuva mu mawanga ag’enjawulo n’agamba nti eddembe erikuumiddwa Gavumenti ya Uganda n’obuwangwa bwa Bannayuganda obw’enjawulo obwaniriza kumpi buli muntu bukoze kya maanyi okutumbula ebyobulambuzi mu ggwanga n’okwongera ku nkolagana n’abantu abalala. Bannayuganda baayolesezza ebintu ebikolebwa kuno okuli ennyambala, emmere n’ebirala.
Omubaka wa Uganda mu Australia, Dorothy Samali Hyuha yagambye nti Bannayuganda ababeerayo bagabana obuwangwa bwabwe n’amawanga amalala ekyongera okutunda Uganda n’okunyweza enkolagana n’amawanga amalala