Amawulire

Mmengo ewadde ensaasaanya y’Oluwalo lw’omwaka 2025

MMENGO ewadde ensaasaanya y’ensimbi 1,953,545,400/- ezaakung’aanyizibwa mu nkola y’Oluwalo mu mwaka gwa 2025.

Waggwa Nsibirwa (wakati) ng’ali ne minisita wa Gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Joseph Kawuki (ku ddyo) ne Remmie Kisakye owa Majestic Brands.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MMENGO ewadde ensaasaanya y’ensimbi 1,953,545,400/- ezaakung’aanyizibwa mu nkola y’Oluwalo mu mwaka gwa 2025.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa ye yawadde ensaasaanya eno n’agamba nti baayagadde kwoleka abantu obukulu bw’obwerufu mu nkulaakulana.
Obukadde 319, zaakozesebwa okutandika amasomero ga nnasale 12; Bulemeezi, Kyaddondo, Buddu, Busujju, Ssingo, Gomba, Buvuma, Kabula, Busiro, Kyaggwe, Bugerere ne Kooki. Omulimu gw’Amasiro g’e Kasubi ogwalangirirwa nti gumaliriziddwa gwatwalako 471,244,341/-
Ensimbi 196,151,534/- zaakozesebwa kugula ebikozesebwa n’okutandika, okuddukanya eddwaaliro lya Muteesa II e Busimbi - Mityana mu Ssingo ate 37,118,000/- zaakoze ku pulogulaamu ey'okuwagira abalimi, okufuna emisomo ku nnima ey’omulembe ate nga ya mutindo.
Kabaka Education Fund (KEF) nga kye kitongole kya Kabaka ekiweerera abaana kyawagiddwa n’ensimbi 55,583,650/- eziyambye abaana ba Buganda okusoma.
Ensimbi 88,810,000/- zaakozesebwa okuteekateeka emikolo gya Luwalo lwaffe omuli ebirabo, weema, obutebe, okutimba, endongo, ebyobuyonjo, ebyokwerinda, abasitula ebintu, n’okulambuza abakiise Embuga.
Okukola ku nzirukanya y’emirimu mu masaza, 48,649,088/- ze zaaddiziddwaayo okuyamba ku ntambuza y’emirimu. Ku nsimbi eziva mu ggombolola, ebitundu 10 ku 100 ziddizibwayo okukola emirimu egitali gimu noolwekyo mu nteekateeka eno 195,354,540/- ze zaatuukirizza obuvunaanyizibwa obwo.
Okusembeza abantu abaleeta oluwalo e Bulange mu mbeera y’emmere n’amazzi kwateekebwamu 142,010,000/-. Okukubisa satifikeeti, ebbaasa omusabikibwa satifikeeti, ne fuleemu z’ebifaananyi byamalawo 262,007,395/-.
Okuwagira enteekateeka z’okuzimba ekisaawe ky’essaza ly’e Buddu mu mukago Obwakabaka gwe bulina n’ekitongole kya EACOP, zaateekebwamu ensimbi 94,000,000/- ate enteekateeka z’ebyobulamu omuli okukuba ensiisira z’ebyobulamu zaateekebwamu 43,211,852/- ng’abantu 42,202 be baafuna obujjanjabi