NG’OLUSOMA lwa ttaamu esooka lutandika olwaleero mu butongole, Poliisi eyisizza ebiragiro eri abaamasomero n'abazadde okutangira abayizi okufuna ebizibu.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yasinzidde mu lukuhhaana lwa bannamawulire eggulo ku kitebe kya Poliisi e Naggulu, n’agamba nti Poliisi yabuulidde
dda abaamasomero bonna okunyweza ebyokwerinda ku masomero gaabwe.
Ebimu ku birina okuteekebwako essira, be bannannyini masomero okwekebejja ebintu abayizi bye batwala ku masomero naddala ab’ekisulo kuba waliwo abakukusa ebintu ebitakkirizibwa omuli ebiragalalagala, engoye, ebyokulya, ebiso n’ebirala.
l Era bannannyini masomero balina okulaba ng’ebizimbe byonna biri mu mbeera nnungi.
Tebirina kubaamu njatika era gye banaasanga nga biri mu mbeera mbi, tebajja kukkiriza bayizi kuyingira.
Ebinnya byonna ku masomero birina okuzibibwa, abayizi baleme kubigwamu kufuna bubenje obwewalika.
l Buli ssomero liteekwa okubeera n’ebyuma ebizikiza omuliro kibayambe okugukkakkanya ssinga guba guzze, nga bwe balinda obuyambi bwa Poliisi. Omuliro oguzze gusaanyaawo ebintu by’abayizi mu masomero yagambye nti gusaasaana nnyo olw’okuba amasomero tegaba na byuma bigukkakkanya. l Ku mulyango kuteekwa okubaako ekitabo abagenyi mwe bawandiika era abakuuma balina okwetegereza
amannya g’abagenyi agawandiikiddwaamu kuba abamu batera okuwandiika erinnya limu n’ennamba y’essimu etejjudde nga mu bano mwe muyitira abamenyi b’amateeka.
l Yagambye nti era abakuuma ku masomero balina okufaayo ku byokwerinda by’abayizi okumanya abantu ababatutte ku masomero n’okubanonayo kuba waliwo abazadde abafuna obutakkaanya ng’omu tayagala kumanya baana gye basomero nga bwe banonebwayo nga tamanyi, addukira ku poliisi nti bababbye!
l Rusoke era yagambye nti abakulira amasomero balina okufuna abasawo beekebejje abayizi abazzeeyo ku masomero embeera mwe bali kuba waliwo abalina dwadde nga beetaaga okufiibwako ennyo. Abayizi abawala balina okubakebera bazuule oba tebalina mbuto.
Balina n’okubakebera bazuule abatulugunyiziddwa ekisusse mu luwummula.
Okwewala okubbibwako ssente za ffiizi, Rusoke yasabye abakulira amasomerookukwatagana ne bbanka bafune engeri gye basasulamu ebisale nga tebasimbye nnyiriri ku bbanka kuba abafere batera okuteega abantu ne babaggyako ssente.
l Amasomero agalina ebidiba ebiwugirwamu (Swimming Pool) gateekwa okussaawo amateeka amakakali okutangira abayizi okumala gayingira bawuge.
Mu 2025, waliwo abayizi abaafiira mu kidiba nga kyavaku bulagajjavu abalabirira
ebidiba obutamanya baani abayingidde okuwuga.
l Omwogezi w’ekitongole kya poliisi y’ebidduka,Michael Kananura yalabudde abagoba b’ebidduka naddala takisi ne bbaasi obutatikka kabindo, okwewala obubenje.
l Poliisi era yalabudde abazadde obutasuula buvunaanyizibwa bwabwe obw'okutuusa abaana ku masomero naddala abaana abali mu myaka egikka wansi wa 18. l Abazadde era balabuddwa obutamala geesiga bantu be batamanyi okubakwasa abaana okubatwala ku masomero oba okubatikka ebintu by'abayizi kubanga amalindirizi gaba mangi mu
biseera eby'okuzza abaana ku masomero.