ABAKAMBWE ba Iran nga bakulembeddwa Ayatollah baweze nti, byonna America
by’eyagala mu nteeseganya ze balimu, bagenda kubikola naye tebagenda kuteesa ku
kya mizayiro zaabwe.
Okwo baagasseeko nti n’ebya bbomu za nukiriya ze banenyezebwa ekibiina ky’amawanga amagatte ekya United Nations (UN), okuba nga baweesa, nazo si zaakuteesebwako. Iran egamba nti teweesa bbomu wabula fakitole z’ebya nukiriya UN, amawanga g’Abazungu ne America ze gaginenya okuzimba, zikola masannyalaze ga nukiriya sso si bbomu.
Kati mu nteeseganya eziri mu Oman wakati wa America ne Iran, omukambwe Ayatollah Ali Khamenei agamba nti, pulogulaamu ya mizayiro ne nukiriya waabwe, tebiteesebwako.
Amawulire ga Middle East Eye, Al Jazeera n’amalala agaalaze minisita wa Iran ow’ensonga z’ebweru ayitibwa Abbas Araghchi ng’ayogera, gaamulaze akikkaatiriza nti, Iran tejja kuteesa ku nsonga ezo kubanga zitegeeza byakwerinda byayo eby’omunda. Ekibinja kya America ekyasindikibwa Pulezidenti Donald Trump okuteesa nen Iran ekirimu abakungu Steve Witkoff ne Jared Kushner, kyasisinkanye mu kibuga kya Oman ekikulu Muscat ku Lwokutaano enteeseganya ne zitandika ku Lwomukaaga.n Zaakubiriziddwa minisita wa Oman ow’ensonga ez’ebweru, Badr bin Hamad Al Busaidi eyategeezezza nti zaatandise bulungi ng’enjuyi zombi zoogera ku birimu eggumba. Eby’obutateesa ku nukiriya Iran by’eteyagala teyabyogeddeko kubanga balinda
lwe ziddamu balabe ate bwe binaatambula.
Ng’okuteesa kugenda mu maaso, Trump yasindika dda emmundu ez’amaanyi mu li yanja lya Gulf of Oman n’agayanja agalala ageetoolodde Iran okwerinda ssinga eggwanga eryo liziremesa. Ensonga endala, Trump anenya Gavumenti ya Iran okutta abeekalakaasi abasukka mu 5,000 n’okusiba abalala 800 abaakwatibwa mu
kwekalakaasa okwo nga bawakanya ebbeeyi y’emmere eyalinnya