POLIISI ekoze ebikwekweto mw’ekwatidde abantu 95 abateeberezebwa okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka n’ebaggalira.
Ebikwekweto bino byakoleddwa poliisi y’e Kira oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu batuuze nga bagamba nti babatigonya olutatadde. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti, ebikwekweto ino byakoleddwa mu bitundu abeemulugunya bye baalonkomedde poliisi. N’ategeeza nti, ebikwekweto bino byatandise nga February 3, 2026 nga byabadde mu bitundu okuli Kireka, Kamuli Kyaliwajjala ne Naalya nga ku olwo abantu 62 be baakwatiddwa. Nga February 4, 2026 abaserikale e Kyanja, Kisaasi ne Kulambiro baakutte abantu 19 ate e Mulawa ne Nsasa ne bakwata 14.
Yagambye nti abamu ku baakwatiddwa, baasangiddwa n’emisokoto gy’enjaga. Yategeezezza nti, abantu okuvaayo ne bawa poliisi amawulire, kiyamba okukendeeza
obumenyi bw’amateeka. N’asaba abantu beeyambise ennamba z'essimu okuli 0801991699, 0714667743 ne 0776999136m bawe poliisi amawulire, ebitundu byabwe gogolwe.