Amawulire

Munnayuganda bamutemyeko omutwe ku kyeyo

MUNNAYUGANDA eyagenda okukola obwa kadaama, bamutemyeko omutwe ne gugwa wali.

Vicky Ajok (ku ddyo) eyattiddwa wano yali ku mulimu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MUNNAYUGANDA eyagenda okukola obwa kadaama, bamutemyeko omutwe ne gugwa wali.
Ono abadde mu ggwanga lya Syria eryali lifugibwa musajja wa Vladimir Putin, Bashar al-Assad eyawambibwa abayeekera omwaka oguwedde n’addukira mu Russia, kkooti yatudde mbagirawo n’emusalira gwa kufa n’attibwa.
Eggwanga eryo nga kati likulemberwa Ahmed Hussein al- Sharaa, Munnayuganda ono gy’abadde akola egy’omu nju mu Buwarabu egyakazibwako egy’Obwakadaama oba Sekadaama bw’aba musajja, yattiddwa mu bulumi.
Eyattiddwa ye Vicky Ajok amaze ebbanga mu ggwanga eryo ng’aliko mukadde gw’alabirira era ku mulimu ogwo, we waavudde obuzibu bwamuviiriddeko okuttibwa.
Ogwamusaliddwa mu kkooti gwavudde ku bigambibwa nti, yasse eyali nakinku w’okuzannya emizannyo ne firimu amanyiddwa nga Huda Shaarawi ow’emyaka 87.
Oyo y’abadde bboosi wa Ajok agambibwa nti baafunye obutakkaanya n’amukuba n’amutta.
Yakwatibwa abeebyokwerinda e Syria gye buvuddeko.
Ekibiina ekikwataganya ensonga z’abali ku kyeyo mu Uganda ekya Kyeyo Initiative, gye buvuddeko kyagezezzaako okutuukirira aboobuyinza mu Gavumenti ya Syria bayimbule Ajok ng  tanattibwa nga buteerere.
Kigambibwa nti, Ajok bwe yatuusiddwa mu kkooti, yakkirizzaomusango omulamuzi
n aye n’amusalira gwa kuttibwa. Ekyewuunyisa mu kkooti, teyabaddeyo na
looya nga kirowoozebwa nti ne bye yazzeemu bingi omulamuzi bye abadde amubuuza mu kkooti, yabadde talina amuyamba kumanyakiddako, abyogere atya ne kye bitegeeza nga byonna omwo.
Ekibiina kyajjukizza aboobuyinza mu gwanga eryo ku tteeka
lya Gavumenti yaayo, ennyingo 51 eya ssemateeka eyakolebwa mu 012, erikkiriza  muntu okufuna looya nga yeewozaako n’omusango okuwulirizibwa mu bwerufu   obwenkanya, ebigambibwa nti byabuze mu kuwozesebwa kwa Ajok. Ebimu ku isoomooza, y’engeri kkooti gye yayanguye okukkiriza nti Akoj ye yasse namukadde
Huda Shaarawi olw’okuba y’abadde omuyambi we owa waka