Amawulire

Omuwala omulala embooko bamusse

OMUWALA omulala embooko attiddwa! Shadiah Nansamba 28, abadde yaakava ku kyeyo yattiddwa nga kigambibwa yafunye obukattaanya ne muganzi we Moses Ssekamatte. Attiddwa nga tewannayita wiiki ng’omuwala omulala omubalagavu Daina Namulinde abadde amanyiddwa nga Diana Skyz yaakattibwa agambibwa okuba muganzi we eyamutugidde mu nnyumba ez’ebbeeyi e Kyanja.

Nansamba eyattiddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUWALA omulala embooko attiddwa! Shadiah Nansamba 28, abadde yaakava ku kyeyo yattiddwa nga kigambibwa yafunye obukattaanya ne muganzi we Moses Ssekamatte. Attiddwa nga tewannayita wiiki ng’omuwala omulala omubalagavu Daina Namulinde abadde amanyiddwa nga Diana Skyz yaakattibwa agambibwa okuba muganzi we eyamutugidde mu nnyumba ez’ebbeeyi e Kyanja.
Nansamba yakomawo okuva ku kyeyo mu November wa 2025 n’atuukira ewa muganzi we Bunamwaya gyabadde asula ku nnyumba ez’ebbeeyi eza apartment. Okuva lwe yadda abadde yeemulugunya ku muganzi we Ssekamatte g’amulumiriza nga bwabadde amuweereza ssente ng’ali ku kyeyo ze yakolamu supermarket ne saluuni e Nyanama kyokka nga yamugaana okulinnyamu ekigere.
Muganda wa Nansamba, Rehema Namatovu yagambye nti omugenzi aludde ng’alina obutakkaanya ne muganzi we okuva lwe yakomawo.
Edward Mukasa abadde mukwano gw’omugenzi yagambye nti Nansamba yamuyise amuyambeko ku muganzi we eyabadde amulemeredde ng’ayagala basale amagezi ku ngeri gyasobola okununulamu emmaali ye.
Baatambudde mu bantu ab’enjawulo abayinza okubayamba okuva ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo okutuuka ku 11.00 ez’akawungeezi we baayawukanidde olwo Nansamba n’agenda ewa mugandawe Namatovu. Namatovu yagambye nti yafunye bodaboda ye yawadde Nansamba emutwale e Nyanama gyabadde asula akimeyo ebintu bye, kuba yabadde takyasobola kusigala ng’abeera n’omusajja gwatakyalinamu bwesigwa. “Owa bodaboda ebintu yabireese bulungi ewaka. Ku ssaawa 12.00 ez’akawungeezi, bodaboda endala yazze nga bamutaddeko ne bamusuula ewaka ne beeyongerayo. Muganda
wange yabadde mu mbeera mbi nga tasobola kwogera wadde okwetambuza era twafuniddewo emmotoka eyamututte mu ddwaliro e Mulago gye baakatutemedde nti omuntu tututte mufu,” Namatovu bwe yayogedde ku nfa ya mugandawe.
 mulambo gwa Nansamba gwaggyiddwa mu ddwaaliro e Mulago ne gutwalibwa ku kyalo Kyakudduse ekisangibwa mu disitulikiti  y’e Kyotera ewaabadde okuziika.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Rachael Kawala yagambye nti baatandise okunoonya Ssekamatte abayambeko okumanya ekyavuddeko muganzi we okufa mu ngeri etaategeerekese.