Amawulire

Basibiddwa lwa kukozesa linnya lya muwala wa Museveni okubba

ABAAKOZESA erinnya lya muwala wa Pulezidenti Museveni, ne babba abantu ku mutimbagano kkooti ebasindise Luzira.

Isabirye (ku kkono), Egesa (wakati) ne Kakaire mu kaguli mu kkooti y’oku Buganda Road.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABAAKOZESA erinnya lya muwala wa Pulezidenti Museveni, ne babba abantu ku mutimbagano kkooti ebasindise Luzira.
Abavubuka basatu okuli; Arafat Isabirye 18, ow’e Nampikiri mu munisipaali y’e Iganga mu disitulikiti y’e Iganga, Zubairi Kakaire 18, ow’e Mutambala mu disitulikiti y’e Iganga ne Sharif Egesa 18, nga naye w’e Iganga baasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Winnie Nankya Jatiko ku kkooti ya Buganda Road n'abasomera omusango gw’okukozesa obubi kompyuta okunyaga abantu.
Kigambibwa nti, mu June wa 2025 ne January wa 2026 mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo okuli Kampala, Iganga ne Ibanda, baggulawo omutimbagano gwa WhatsApp nga bakozesa ennamba z'essimu ez'enjawulo ne basaasaanya obubaka mu bantu nga bakozesa amannya ga Natasha Karugire Museveni.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwaamu omuwabi wa Gavumenti, Allan Mucunguzi lwategeezezza kkooti ng’okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso n'asaba kkooti ebongereyo obudde. Abavubuka bano baategezezza kkooti nti baana bato era basoma.
Omulamuzi yabasindise e Luzira okutuusa nga March 9, 2026. Yalagidde abasirikale e Luzira okubakebera oba ddala bakyali bato ne bazadde baabwe baleete ebbaluwa zaabwe ez'obuzaale