POLIISI ekutte omusuubuzi w’e Kitebi ne muganzi we ku bigambibwa nti beenyigidde mu kutta omuwala kadaama abadde yaakadda okuva ku kyeyo mu Buwalabu.
Moses Ssekamatte 46, ow’e Bunnamwaya Central nga ye nnannyini supamaketi ya Mos, e Kitebi yakwatiddwa ne muganzi we Sharon Birungi 32, ow’e Kitebi nga kigambibwa nti beekobaana ne batta Shadia Nansamba 28. Nansamba yattiddwa ku Mmande ya wiiki ewedde ku ssaawa 4:30 ez’ekiro mu ttawuni y’e Nyanama mu Makindye Ssaabagabo. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yategeezezza Bukedde nti abakwate bagguddwaako omusango gw’obutemu ku ffayiro SD REF:
05/10/02/2026 era balinze kutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe.
Rehema Namatovu mukulu w’omugenzi yategeezezza nti, mutoowe abadde amaze emyaka esatu e Dubai ng’akola bw’aweereza muganzi we, Ssekamatte ssente. Bwe yakomawo mu November w’omwaka oguwedde, yasanga Ssekamatte ssente yazikolamu
ebibye n’okuganza omuwala omulala. Agamba nti, Ssekamatte yapangisiza Nansamba apaatimenti e Bunamwaya, Nansamba n’amwekengera! Namatovu agamba ntin Nansamba yalina ekirooto ky’okutandika ssaaluuni kyokka bwe yasaba muganzi
we ssente ze yamuweerezanga, yamubuzaabuza era okumukkakkanya, yamukolera ddipo
y’amazzi e Nyanama kyokka yamulemerera kuba si kye kyali ekirooto kye.
Kigambibwa nti, oluvannyuma Ssekamatte yakkiriza okukolera Nansamba ssaaluuni kyokka yamuteekako akakwakkulizo k’okumuwa essimu ye ekika kya Iphone 17, gye yatunda ku bukadde buna n’amukolera ssaaluuni. Wabula Nansamba kyamubuukako ate okusanga Ssekamatte ng’aleze omuwala omulala mu ssaaluuni gye yamukolera!
ENGERI GYE BATTA NANSAMBA
Shakirah Nakanyike omutuuze w’e Nyanama yategeezezza ntiolutalo lwatandikira ku Nansaba kusanga Ssekamatte ng’asitudde omuwala Sharon Birungi mu ssaaluuni.Nansamba yava mu mbeera n’apacca Birungi oluyi. Kigambibwa nti Birungi
mu kwerwanako, yakwata ppeeva n’agikuba Nansamba ku mutwe n’agwa wansi era abaagalana bano baamulekawo ne beeyongerayo.
Abatuuze balumiriza Ssekamatte okuwaga Birungi ng’akola obutemu buno, mu kifo ky’okutaasa. Nakanyike agamba nti, Nansamba baamutwala ewa mukulu we Namatovu e Masajja kyokka ng’avaamu omusaayi mu mutwe era yafa atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago mu kiro ekyakeesa Olwokubiri lwa wiiki ewedde. Yaziikiddwa ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde e Kyakudduse mu Kyotera.