Amawulire

Ebibuuzo 10 ebikyebuuzibwa ku nfa y’omukungu wa UCU

EBY’OKUKWATA eyali omukozi w’awaka ku by’okutta omukungu wa yunivasite y’e Mukono, byongedde okuleeta ebibuuzo ku nfa ye.

Ebibuuzo 10 ebikyebuuzibwa ku nfa y’omukungu wa UCU
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EBY’OKUKWATA eyali omukozi w’awaka ku by’okutta omukungu wa yunivasite y’e Mukono, byongedde okuleeta ebibuuzo ku nfa ye.
Pamela Tumwebaze, yaziikiddwa ku kyalo ky’e Keigoshoora mu ggombolola y’e Rubaya e Kashari e Mbarara wakati mu booluganda lwe okussa poliisi ku nninga okuzuula bonna abaabadde mu lukwe lw’okumutta.
Mu kuziika, Cansala wa yunivasite ya UCU, Polof.Aaron Mushengyezi n’akulira abayizi baatenderezza Pamela olw’ebirungi by’abakoledde era Polof. Mushengyezi yagambye nti, akoze bingi bye bamuyigiddeko olw’empisa ennungi z’abadde alina omuli; okulaga omukwano eri buli muntu, omutima ogw’obuzadde, okwagaliza, omukozi ate nga mukkiriza eri eddiini ye.
Aba ffamire y’omugenzi nga bakulembeddwamu Joel Tumwebaze baatadde Poliisi ku nninga ezuule abantu abali emabega w’ettemu lino era nti, bo ng’aba ffamire beetegefu okuyambako mu kunoonyereza kuno.
EBIBUUZO
Okusinziira ku amyuukaakulira yunivasite y’e Mukono, Aaron Mushengyezi, omugenzi abadde ateekateeka mbaga ye, ekyalese abangi nga beebuuza, omuntu abadde ow’empeta ne bba munnamateeka Alexander Matsiko, ate nga kkooti ebadde tebagattululanga, kijja kitya okuba ng’abadde agenda kuyingira mu ddya eddala n’Omuzungu-Mark Gutherie?
Engeri gy’abadde yanoba ewa bba ate ng’omukozi gw’abadde naye muvubuka, tulowooze nti, omukozi ono yatuuka ekiseera ne yeegwanyiza mukamaawe nga tamanyi, oba baalina ekyama wakati waabwe, nga kye kyamuviiriddeko okumutta ng’awulidde nti, yafunyeeyo Omuzungu agenda okumuwasa, ng’okumutta, bwabadde buggya?
Abalala beebuuza nsonga ki eyaviirako Pamela Tumwebaze, okugoba omukozi omusajja gwe yali amaze naye ebbanga, n’amusikiza omuwala. Tukitwale nti, alina emize gye yali amuzuddemu omwali n’okumukolako olugambo mu ntambuza y’obulamu bwe?
Kigambibwa nti, gye buvuddeko, waliwo bannaddiini, abaayingira mu nsonga za Tumwebaze, nga baagala adding’ane ne bba Matsiko, kyokka nga mu kiseera ky’ekimu, waliwo enteekateeka gye yali tayinza kwebeera, oba yali amwekengedde ng’alina omuntu gwe yali takwatagana naye, eyali atandise okumukozesa
Emiranga n’ennaku mu kuziika abadde Dean w’abayizi ku yunivasite ya UCU e Mukono Pamella Tumwebaze (mu katono) mu maka ga kitaawe e Rubaya -Kashari, Mbarara disitulikiti. Kozesa Vision Digital Experience olabe vidiyo.
okumubbira ebyama ku ebyo ebyali bigenda mu maaso wakati w’omugenzi n’abantu be yali akolagana nabo mu nsonga ez’enjawulo.
Abamu baawuliddwa nga beebuuza ensonga lwaki bba yali yagaana baawukane mu mateeka newankubadde nga babadde tebakyabeera bonna.
Omu ku baffamire, yategeezezza Bukedde nti, omwaka gumu emabega, ne looya Tumwebaze, gweyali yafuna okumugobera ku nsonga z’okwawukana ne bba mu kkooti, yatuuka ekiseera ng’amwebulizabulizaako, okutuusa lwe yamuvaako, era w’afiiridde, wiiki ntono emabega, omugenzi abadde yaakafuna looya omulala.
Tukitwale nti, olukwe lw’okumutta, lwagenderedde kulemesa nteekateeka za kwawukana na bba, oba kumulemesa kufumbiriganwa ne bba Omuzungu?
Agambibwa okutta Tumwebaze, yamutta mu bungenderevu oba mu butanwa? Yali yattako dda oba nga gwe mulundi gwe ogusoose? Kyama ki ekyali mu kwambala ekiteteeyi ky’omugenzi?
Waliwo n’ekibuuzo ku ngeri omutemu gye yasobola okumutta newabulawo awulira ate nga teyakozesa kissi kyonna. Kigambibwa nti, yamuvumbagira nga yeebase n’amunyiga ennyindo okutuusa lwe yafa ekiziyiro.
Omukozi Sharif Lwantale, ayogerwako, eyali mu nnyumba nga Tumwebaze, attibwa, muwala oba muvubuka? Ate ye Dak Taewaiko, agambibwa okumutta, ddala amannya ge amatuufu ye ani?
“Amannya agatuumibwa e Budaki, mmanyi lya ‘Daka’ so si ‘Dak’ ate erya ‘Taewaiko’ nalyo ewaffe mu Banyole, tetulirina,” omu ku batuuze bwe yawuliddwa ng’aliko gw’ayogera naye.