Amawulire

Abatuuze be Wamilongo mu Gombolola ye Busukuuma  bafunye ssente za PDM ne bassiima pulezidenti Museveni

ABATUUZE mu muluka gwe  Wamilongo mu Gombolola ye Busukuuma mu munisipali ye Nansana bafunye akaseko ku matama bwebaweereddwa ssente z'okwekulaakulanya eza Parish Development Model. 

Abamu ku baafunye eza PDM nga bawaga
By: Paul Lubwama, Journalists @New Vision

ABATUUZE mu muluka gwe  Wamilongo mu Gombolola ye Busukuuma mu munisipali ye Nansana bafunye akaseko ku matama bwebaweereddwa ssente z'okwekulaakulanya eza Parish Development Model.
Bano ababadde ku Eklezia ya Kibibi Catholic Church,e Wamilongo olwafunye mesegi ya sente million 1 ku ssimu zaabwe ne basiima pulezidenti Museveni olw'okubalowozaako ne bategeza nti bakumuwagira ekiseera kyonna.


Boogedde byebagenda okukola mu sente zino nga bangi ku bbo balimi n'abalunzi.
Mu munisipali ye Nansana gavumenti egabyemu ssente za PDM ezisoba mu buwumbi 10 ,nga ne pulezidenti bweyali alambula abafunye muntekateka eno yalambula owe Migadde n'amwogeramu ne ku sente okutumbula omulimu gwe ogwokulunda embizzi n'okulima. Omubaka wa pulezidenti mu munisipali ye Nansana,Charles Lwanga,yabaddewo nga sente zino zigabwa n'asaba abazifunye okuzikozesa obulungi.

Abamu ku baafunye eza PDM nga basiima paulezidenti

Abamu ku baafunye eza PDM nga basiima paulezidenti

Yabalabudde ku kuziteeka mu bintu byebawandiisa ekiyinza okuzivirako okufa kyokka nga mu myaka 2 balina okutandika okuzizzaayo nabalala bafune ,”temukozesa sente zino okuwasa abakyala oba abavubuka okuzitwala mukusiba akapapula nti muzizazamu” Lwanga bweyalabudde

Ne mugombolola ye Gombe mu munisipali ye Nansana nabo sente bazifunye nga bangi kubazifunye bategezeza nga bwebagenda okuzikozesa mukulima kubanga ne sizoni enatera okutandiika nga bamaze dda okutekateka ennimiro zabwe.

Abatuuze nga bali mu lukiiko

Abatuuze nga bali mu lukiiko

Wano omubaka wa pulezidenti Charles Lwanga,yalabudde abasunsula abagenda okufuna sente okukakasa nti baziwa abanaku abakolera olubuto pulezidenti bayagala okujja mu bwavu. Agambye nti kimenya mateeka nomuntu okuwaayo sente okumussa kulukalala lwabalina okufuna