AB’EKITONGOLE ky’amakomera mu disitulikiti y'e Wakiso basiimye abantu ab’enjawulo abavuddeyo ne babaddukirira n’ebintu eby’okusibulukukirako mukiseera kino eky’ekisiibo.
Herbert Kanyooma omu ku bakulembeze ku kkomera ly’e Kasangati yategeezezza nti ebiseera bingi abantu ab’enjawulo badduukirirwa mu kisiibo n'ennaku enkulu kyokka abasibe ate bo ne batalowoozebwako.

Abamu ku bantu be baawadde ebitereke
“Twebaza nnyo nti naffe tulowoozeddwako ng’abamakomera era nga tuli wamu n’abasibe baffe, tulina essanyu nti ebintu ebituweereddwa tugenda kubituusa bulungi eri abasibe baffe Abasiraamu ate nabo baleme kunyolwa mu kisiibo kye balimu.” Kanyooma bwe yayongeddeko.
Yategeezezza nti wadde be batwalidde ebintu basibe, balina okukkiriza nti ennaku abamu gye babeera nayo mu kkomera ebavaako abantu ab’enjawulo bwe bavaayo ne babadduukirira n’obuyambi obw’enjawulo.
Ekibiina kya One Ummah Uganda ekikulemberwa Hajjati Shania Kigozi kyatutte ebintu eby’enjawulo okuli sukaali, akawunga, engano, butto n'ebintu ebirala ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.

Ebimu ku bintu bye baawadde abasibe ku kkomera ly'e Kasangati.
Bino byakwasiddwa Kanyooma ssaako ne baserikale banne abalala nga bano baalaze essanyu olwekyo ekyakoleddwa Hajjati Shania ne bategeeza nti bigenda kugabibwa bulungi ate mu bwerufu okulaba nga buli musibe musiraamu aganyulwa.
Shania yategeezezza nti baasazeewo okugenda mu basibe okulaba nga nabo bajaguliza wamu omwezi gwa Ramadhan wadde nga bayita mu kiseera eky’okuweereza ebibonerezo byabwe mu makomera.
Yakuutidde abasibe okuba abagumu n’okusigala nga beekwata ku Allah kuba ye yekka agenda okubataasa mu kiseera ky’okusoomoozebwa kwe balimu ssaako okubalungamya obutaddamu kugwa mu kabi.
“Tuwadde abasibe ku kkomera lya Kasangati, Kasanje, Kitalya n’ekkomera ly’e Mpigi ssaako ababundabunda mu bitundu bya Kawempe kkeeti falaawo era kino tukikola kuba abasinga tebalina busobozi bwetuusaako bintu eby’enjawulo ate nga baagala okusiiba.” Shania bwe yayongeddeko.
Yasabye abantu ab’enjawulo nabo okulabira ku One Ummah baveeyo badduukirire abo abali mu bwetaavu, kuba y'emu ku mpeera Allah gy'awa Abasiraamu mu kiseera kino eky’ekisiibo.