Amawulire

Ab'ekika ky'Endiga batuuzizza ow'essiga

OMUTAKA Eria Buzaabo Lwasi Akulira ekika ky'endiga atuuzizza Ow'essiga Buvi e Bunnamweri-Mpigi Ying. Ronald Ssenkeeto n'alagira nti tayagala kuwulira kifo kya bukulembeze, kitaliimu mukulembeze kubanga kino kizingamya emirimu mu Kika.

Ying. Ronald Ssenkeeto
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

OMUTAKA Eria Buzaabo Lwasi Akulira ekika ky'endiga atuuzizza Ow'essiga Buvi e Bunnamweri-Mpigi Ying. Ronald Ssenkeeto n'alagira nti tayagala kuwulira kifo kya bukulembeze, kitaliimu mukulembeze kubanga kino kizingamya emirimu mu Kika.

Omutaka Lwomwa Lwasi agamba nti buli lwewabaawo obukulembeze obutajjudde, emirundi mingi abazzukkulu basigala mu masanganzira.

" Njagala okulaba buli kifo ekitaliimu mukulembeze nga kijjuzibwa ate abatalina bifundikwa ku mutendera gw'obukulembeze gonna, emikolo gikolebwe, babifune," Lwomwa Lwasi bweyayogedde ku mukolo guno ogwabaddewo ku Lwomukaaga.

Omutaka Lwomwa Lwasi ng'atuuza Ow'essiga Buvi, Ying. Ronald Ssenkeeto

Omutaka Lwomwa Lwasi ng'atuuza Ow'essiga Buvi, Ying. Ronald Ssenkeeto

Essiga lya Buvi nga limu ku masiga 17 agakola ekika ky'endiga, libadde likuumibwa Hajj Yusuf Kabaale Okumala ebbanga erisoba mu myaka Mwenda okuva eyali mu bukulu buno Yusuf Lwasi Kabwa okuva mu bulamu bwensi mu 2017.

Omutaka Lwasi era yawadde Abamasiga okuli Buvi, Sserunkuma, Luwanga Namusota ne Ssemiti wiiki Bbiri okumaliriza okukunganya ssente ezinabasobozesa okufuna ekyapa ky'ekifo ky'ekkomera omwasibibwa Kalyesubula, Lwomwa omuberyeberye ekiyitibwa Mwendanseko kubanga Kya muwendo eri ekika.

Katikkiro w'ekika ky'endiga, Christopher Kalyesubula yasabye bazzukkulu banne okugoberera enteekateeka nnamutayika ey'ekika gyeyayogeddeko ng'egendereddwamu okutumbula obumu, okunyweza Obuwangwa ate n'enkulakulana.

Mu kwogera kwe, Ying. Ssenkeeto yeebazizza buli aliko kyaakoze okulaba ng'omukolo guno nga gutuukirizibwa bwatyo n'asaba abessiga lino okutambulira awamu naye, okwerabira obutakkanya okubaddewo, bakulakulanye essiga ate nga bwe benyigira ne mu mirimu n'enteekateeka ezitereddwawo Omutaka Lwomwa okukulakulanya ekika.

Lubuga Nakiyingi Kitiibwa nga bwafanana

Lubuga Nakiyingi Kitiibwa nga bwafanana

Okusaba kw'okuwonga Ying. Ssenkeeto ne Lubuga we Nakiyingi  Kitiibwa eri Omutonzi kwa kulembeddwamu Ssabaddinkoni we Mpigi, Can. Saul Masembe Kalule eyasuubizza enkolagana n'owessiga Omuggya kubanga ekanisa mu kitundu kino tosobola kuggyawukkanya n'ekika ky'endiga.

Can. Kalule eyabadde ayambibwako Can. Samuel Ssenkeeto era yasinzidde wano n'asomooza abo abakulembeza okutebenkeza Uganda ate ne beerabira okutebenkeza Buganda ekintu kyagambye nti si kituufu kubanga Buganda bwebeera ntebenkevu ne Uganda olwo esobola okutebenkera!

Omukolo gwetabiddwako Abamasiga n'emituba mu Kika kino, Olukiiko olukozi lw'emirimu mu Kika.