ENFA y’omusajja David Magezi Kitagenda, eyatondose n’afa ekibwatukira ku mabbali g’ekkubo we yasimbye mmotoka ye okugula ebintu by’awaka ekanze abantu.
Magezi, abadde mutuuze ku kyalo Mutuba, Kulambiro, mu diviizoni y’e Nakawa wabula yatondose n’afiira e Bulamu ku lw’e Mityana we yabadde asimbye mmotoka ye ekika kya Toyota Fielder nnamba UBD 765 Y agule ebintu by’awaka.
Omu ku baffamire, yategeezezza Bukedde nti, omuntu waabwe yabadde mulamu bulungi era nga yabadde ava kulima mu nnimiro ye esangibwa ku kyalo Kawolongojjo, ekiri ku luguudo oluva e Mityana okudda e Kampala.
Bagamba nti, okutegeera eby’okufa kwe, baasoose kubiraba nga bisaasaanidde emikutu gya yintaneeti egy’enjawulo, nga balaba bagalamizza omulambo okuliraana emmotoka ye.
Dr. Stella Nyanzi, ng’ayita ku mukutu gwe ogwa X, yategeezezza nti, omugenzi ye mwana asooka owa Fredrick Magezi, eyali akulira ekitongole kya yinsuwa ekya National Insurance Corporation (NIC) ne mukyala we Marjorie Magezi, abaabeeranga e Muyenga Tank Hill, mu diviizoni y’e Makindye.
Banne be yazaalibwa nabo kuliko; Rebecca Magezi Bukenya, Marjorie Magezi, Fiona Magezi ne Al-Hajji Frederick Magezi. Rebecca Magezi, mwannyina w’omugenzi yategeezezza nti, nga ffamire, si beetegefu kwogera ku byakufa kwe, kuba tebakyalina kyakuzza mu kaseera kano.
Omu ku ba ffamire yategeezezza nti, ebyavudde mu kwekebejja omulambo mu ggwanika e Mulago, biraga nti, okufa kwe kwavudde mu mutima kwesiba. (Acute myocardial infunction).
Omu ku bakristaayo b’ekkanisa ya St. Paul Church of Uganda, e Kulambiro Irene Katende yategeezezza nti, babadde basaba n’omugenzi era ng’abadde musajja mukkakkamu nnyo ng’aweereza Katonda n’omutima gwe gwonna.