EKIBINJA ky’ababbi ng’abamu bakutte ejjambiya ezitemagana obwogi, baataayizza omusuubuzi mu Kampala wakati ne bamubba obukadde 60 emisana ttuku!
Obubbi buno obwakwatiddwa ku katambi bwabadde ku ppaaka ya takisi eya Ggwanda mu Kisenyi okumpi ne siteegi okusimba ttakisi z’e Bulenga ne Buloba, ng’omusuubuzi ababbi 12 baamulondedde, omu n’amukwakkulako ensawo omwabadde ssente, bwe yagezezzaako okunyweza ensawo ye ne bamugalulira ejjambiya gattako n’okumukuba ensambaggere.
Akatambi kalaga omusajja ow’ekiwago eyeesimbye mu maaso g’omubbi eyabadde adduka n’ensawo ya ssente n’alyoka amukuba eng’uumi musosolandaggu eyamuleese kanzunzu n’atagala era ensawo n’eba ng’egwa ku ttaka kyokka omubbi omulala n’agalula ejjambiya n’emikono ebiri n’atema omusajja ow’ekiwago kyokka n’atamukwasa, kwe kuddamu n’agigalula ogwokubiri amuteme omukono wabula akatambi awo we kaakomye.
Abantu abaabaddewo baabulidde Bukedde nti, akasongezo k’ejjambiya omusajja w’ekiwago kaamutte ku mukono era ababbi ssente baazitutte ne balinnya Bodaboda nga 5 ezaabadde zibalinze.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yannyonnyodde nti, Poliisi yaakakwatako ababbi basatu ng’omuyiggo gukyagenda mu maaso okukwata abalala n’okuzuula ssente.
Ekifo we babbidde ensawo ya ssente kiriraanye ekifo, ekibiinja ky’abakubi b’emigere we baasooka okukubira omusuubuzi era akola ogwa Mobile Money ne bamutwalako obukadde 52. Kigambibwa nti, omuvubuka gwe babbye era ssente yabadde ava kuziggya mu dduuka lye limu erya Mobile Money.
Omusajja gwe baasooka okubba, Ivan Aliho kigambibwa era y’alabikira mu katambi nga bamutema ejjambiya bwe yabadde agezaako okulwanyisa ababbi. Yabalwanyisizza naye ne bamukuba bubi ne bamusinga amaanyi ekisawo kya ssente ne bakitwala.
Omu ku bannannyini maduuka eyabaddewo ng’olutalo lugenda mu maaso era yasabye amannya gasirikirwe yagambye nti, abamu baalindidde bweru wa ppaaka ku bodaboda ate abalala nga balindiridde kulaba ataasa