Amawulire

Yisuf Nsibambi asaze eddiiro okuva mu FDC ne yeegatta ku NRM mu butongole

ABADDE munnakibiina kya kya FDC era omumyuka  wa ssentebe wa FDC mu bitundu bya Buganda okuva mu Mawokota  South Yisuf Nsibambi olwaleero alangiridde mu butongole nga bweyeegasse ku kibiina kya NRM. Ono alangiriddwa speaker wa Palamenti Annet Anita Among wamu ne ssaabawandiisi w'ekibiina kya NRM Richard Todwong leero ku kitebe kya NRM  e Kyaddondo. 

Yisuf Nsibambi ng'ayogera ne bannamawulire oluvannyuma lw'okusala eddiiro ne yeegatta ku NRM
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Aidah Nakazzi

ABADDE munnakibiina kya kya FDC era omumyuka  wa ssentebe wa FDC mu bitundu bya Buganda okuva mu Mawokota  South Yisuf Nsibambi olwaleero alangiridde mu butongole nga bweyeegasse ku kibiina kya NRM. Ono alangiriddwa speaker wa Palamenti Annet Anita Among wamu ne ssaabawandiisi w'ekibiina kya NRM Richard Todwong leero ku kitebe kya NRM  e Kyaddondo. 

Nsibambi mu bigambo bye ategeezezza nti amazima gali nti ebbanga ly'amaze ku ludda oluvuganya abadde talaba kiddako olw'ebibiina ebivuganya Gav't obutabeera na kiddako.

Yisuf Nsibambi nga bamwamjula ku kitebe kya NRM e Kyaddondo

Yisuf Nsibambi nga bamwamjula ku kitebe kya NRM e Kyaddondo

Nsibambi ategeezezza nti okuslawo kuno yakukoze oluvannyuma lw'okwekenneenya embeera y'ebyobufuzi ebiri ku ludda oluvuganya ebialina mulamwa

Ku ludda oluvuganya tewali mulamwa lwa lwansonga ebbanga lyonna lyetumazeeyo tetutuulangako wansi kuteesa ku nsonga zitwala ggwanga mu maaso. Ebintu ebikolebwa  ku ludda oluvuganya bitaddewo nnyo okubuzaabuza abantu ne bitulabisa ng'abantu abatalina makulu mu maaso g'abalonzi "bwatyo Yisuf Nsibambi bwategeezezza oluvannyum lw'okwanjulwa mu NRM