Poliisi e Nateete ekutte Ssentebe wa LC1 n'abantu abalala babiri nga bagambibwa okukuba omusajja ow'emyaka 63 peeva ku mutwe, n'aweebwa ekitanda mu ddwaaliro e Mulago ng'ataawa.
Byabaddewo mu mwezi oguwedde ku lunaku lw'okulonda nga Jan 15 , bwe baakubye Polly Kibirige Sekiranda 63 omutuuze w'e Kitebi cell e Mutundwe mu Rubaga, ku nkoona ne bamuleka ng'azirise.
Yabadde adda waka ng'ava okulonda ku ssomero lya Kitebi P/S era abazirakisa be bamuyooddeyodde okumutwala ku Kitebi Family Clinic and medical centre ne bamwongerayo e Mulago.
Poliisi ebadde abayigga era eggulo, abasirikale baakutte Henry Kasule 66 nga ye ssentebe wa LC e Kitebi cell, Furik Seviiri, ne Andrew Kitega Kyemwa 50 nga naye mutuuze w'e Kitebi.
Mu ngeri y'emu era poliisi e Nateete ekutte abavubuka bana bagambibwa okunywera enjaga waggulu ku kizimbe ekimu mu zooni ya Kigwanya e Busega.
Bano, kuliko Shafik Kasozi, Godwin Nasasira, Mike Talemwa ne Wilson Nabasa. Kigambibwa babasanze n'emisokoto gy'enjaga egiwerako.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti e Bweyogerere mu Central zooni ne Wellspring zooni, nayo bakozeeyo ekikwekweto, ne bakwata 18. Agasseeko nti bikyagenda mu maaso.