Amawulire

Abatandikawo amakolero basabiddwa

SHEIKH Hussein Mudde mu ofiisi ya Super Supreme Mufti akubirizza abatandikawo amakolero okuwa abantu b’omu kitundu emirimu okwewala okubbibwa.

Sheikh Mudde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

SHEIKH Hussein Mudde mu ofiisi ya Super Supreme Mufti akubirizza abatandikawo amakolero okuwa abantu b’omu kitundu emirimu okwewala okubbibwa.
Bw’abadde aggulawo ggalagi ya Nozotek Auto Services e Nkondo-Buvuma, agambye nti lino ly’ekkubo ne Gavumenti mw’eyita okukwatiza ku bantu abatondawo emirimu n’ebassaamu ssente. Asabye nnannyini kifo, Hajji Sowedi Kiyingi obutasosola mu mawanga oba eddiini, bizinensi esobole okukula.
Akubirizza abatuuze okukolera awamu ne ggalagi eno n’abalina bye batunda okweyambisa akakisa ka bakasitoma abajja okufuna obuweereza mu ggalagi eno, ekitundu kikulaakulane.
Annet Kiddu Namiiro, kkansala omukyala ow’ekitundu, yasabye abavubuka obutanyooma mirimu. Abawadde ekyokulabirako eky’abavubuka b’e Buvuma, Kizeeyi, Bufumbanswa abeeyongerako nga basoma.
N’asiima enteekateeka eyaleeteddwa Hajji Kiyingi n’abasaba okwongera okukwana emikwano egibagattako naddala mu byenfuna. Hajji Kiyingi alaajanidde Gavumenti okukendeeza emisolo ku batandika emirimu kuba bagikwatizaako okumalawo ebbula ly’emirimu