KKOOTI eragidde abagagga abagambibwa okwesenza ku bibanja ebyawambibwa ku batuuze b’e Mutungo, okugyeyanjulira balage engeri gye baabifunamu.
Poliisi y’ebyettaka e Makindye ng’ekulembeddwaamu Isack Hatangimana akola ku musango guno ng’eri wamu ne poliisi y’e Kajjansi ne Katwe, baagenze bukubirire ku ttaka erisangibwa mu zooni ya Kakoola e Mutungo, okuteekesa ekiragiro ky’omuwaabi wa Gavumenti mu nkola, okulagira abaliriko okukola sitatimenti okulaga engeri gye baafunamu ebibanja ebyo.
Kiddiridde Kkooti Enkulu, okuyita abagagga abaasenga ku ttaka lino mu kkooti beewozeeko ku bigambbwa nti, baalisengako mu bukyamu. Abatuuze baabasengula ku kifuba, bwe baategeera ku nteekateeka y’okuzimba oluguudo lwa Munyonyo-Express oluyita mu kitundu kino.
Abagagga bano bassaayo okwewozaako kwabwe mu kkooti, naye baagaana okweyanjula ate ne bagenda mu maaso n’okuzimba, ekyawalirizza omuwaabi wa Gavumenti okulagira bakwatibwe. Poliisi yagenze ku ttaka naye teri mugagga yasangiddwaawo era abakozi abasukka mu 5 be baakwatiddwa bayambeko poliisi mu kutegeera bannannyini bizimbe bye bakolako.
Abatuuze bagamba nti ebibanja byabawambibwako na maanyi omwali; okwonoona amayumbagaabwe n’ebirime. Baagala bayambibwe bafune obwenkanya kuba okuva 2013 lwe baagenda mu kkooti, ebibanja byabwe tebibaddizibwanga.
Enkaayana ku ttaka lino zaatandika mu 2013 mu kukola oluguudo lwa Munyonyo Express, abagambibwa okuba babbulooka bwe baawamba ebibanja by’abantu ebigambibwa nti biwerako yiika 28 ku Block 273, ne babamenyera amayumba n’okwonoona ebirime era ne babagobawo.
Baddukira mu kkooti era emisango egyasooka okwali ogwa Dr. William Nganwa eyasooka okukaayanira ebibanja byabwe ne gugobwa n’ekyapa kye nekisazibwamu n’alagirwa okuliyirira abatuuze kyokka ate abaali beesenzezza mu bibanja byabwe tebaalagirwa kuvaamu.
Omulala yali Jackson Ajuna ng’omusango yaguggyayo mu kkooti n’asaba abatuuze bateese, kye baagaana nga bagamba tebamumanyi. Abagambibwa okuba babbulooka baagenda mu maaso n’okuguza abagagga abalala ebibanja bino.
Abagambibwa okuba nti be baali bannannyini ttaka eryo abasoba mu 100 bagamba nti bali mu mbeera mbi.
OMU KU BANNANNYINI
BIBANJA AYOGEDDE
Siraje Muyanja, omu ku batuuze agamba nti, babbulooka bajja ne babakolako effujjo ne babatBukeddewalako ebibanja byabwe ku mpaka olw’okuba baali baategedde ku pulojekiti y’oluguudo lwa Munyonyo-Express olwali lugenda okuzimbibwa.
Bassaayo omusango oguvunaana bonna abali ku bibanja byabwe nabo ne bassaayo okwewozaako kwabwe naye baagaana okujja mu kkooti ate ne bagenda mu maaso n’okuzimba. Mu kkooti waliyo ffayiro bbiri; eya civil ne criminal era balinze ekiddirira okuva ku kikwekweto kino. Eyali nnannyini ttaka erikaayanirwa, Daison Musisi agamba nti, ye yaguza abatuuze era waakutambula nabo okutuusa nga bafunye obwenkanya.