Amawulire

‘Abalimi mwettanire yinsuwa z’ebibamba’

ABALIMI mu ggwanga bakubiriziddwa obutatya yinsuwa za bulimi kuba y’engeri yokka ebayamba obutakosebwa ssinga balumbibwa ekyeya oba ebirime byabwe okusaanyizibwawo nnamutikkwa w'enkuba olw'enkyukakyuka y'obudde.

Edwin Kabuleeta akulira Bureau Veritas Certification Holding (ku kkono) ng’akwasa Edu satifikeeti.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABALIMI mu ggwanga bakubiriziddwa obutatya yinsuwa za bulimi kuba y’engeri yokka ebayamba obutakosebwa ssinga balumbibwa ekyeya oba ebirime byabwe okusaanyizibwawo nnamutikkwa w'enkuba olw'enkyukakyuka y'obudde.
Okusaba kuno kwakoleddwa aba yinsuwa mu Kampala ku mukolo kkampuni ya NIC General Insurance kwe yaweereddwa satifikeeti ekakasa omutindo gw'obuweereza bwayo eri Bannayuganda.
Satifiiketi eyabaweereddwa eri ku mutindo gwa nsi yonna ng’ekitongole kya Bureau Veritas ekigivunaanyizibwako kyakkaatirizza nti kkampuni yonna eba egifunye, eteekeddwa okusigala ng’egoberera omutindo okwewala okugisazaamu.
Dayirekita wa yinsuwa eno, Elias Edu yagambye nti, satifikeeti eyabaweereddwa, kabonero ka buwanguzi naddala eri abo abatereka ssente zaabwe ne yinsuwa ez’enjawulo n’abakakasa nti, kati basuubire obuweereza obulambikiddwa obulungi era nga butambulira ku mazima n’obwenkanya awatali kulyazaamaanya muntu ssinga ddala kibeera kikakasiddwa nti mmemba waabwe era yeetaaga okuyambibwa.
Avunaanyizibwa ku by'amateeka ga yinsuwa, Betty Matovu yalambuludde nti, omuntu yenna nga tannawaayo ssente ze eri kkampuni ya yinsuwa yonna, ateekwa okusooka okukakasiza ddala nti yinsuwa eyo erina satifikeeti y'omutindo okwewala abakola emirimu mu ngeri ey'ekibogwe.
Matovu wano we yasinzidde n’akubiriza abalimi bettanire enteekateka za yinsuwa kuba bajja kuganyulwamu nnyo naddala mu mbeera z'ebigwa tebiraze.