EBIKWEKWETO by’okugoba aba bodaboda n’aba Takisi abakolera ku siteegi ezitali mu mateeka, bitandise olwaleero mu Kampala.
Mu nteekateeka eno, KCCA ekolaganye ne Poliisi n’amagye okugumbulula aba Boda, aba Takisi n’Abalokole mu kaweefube w’okugogola ekibuga naddala mu masekkati.
Ebimu ku bifo awatakkiriziwa bodaboda ne takisi mulimu okumpi ne poliisi, ebitebe bya minisitule za Gavumenti, okwetooloola Palamenti, mu maaso ga Banka Enkulu, ku luguudo lwonna olwa Luwumu ne Namirembe okwasimbibwa omuddo n’emiti.
KCCA yatadde obupande mu bifo n’enguudo ez’enjawulo okulaga nti, tewali pikipiki ekkirizibwawo era ekyagenda mu maaso n’okuteekawo obulala. Ssentebe w’aba bodaboda mu Kampala Central, Kanyike Kiviiri yagambye nti, bakkiriziganyizza ne KCCA nti, omuvuzi wa bodaboda yenna atalina siteegi nga yakazibwako lya lubyanza takkirizibwa kuyimirira wantu wonna nti, alinda basaabaze.

Abattakisi Ku Burton Street Nga Batikka Abasaabaze.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abavuzi ba ttakisi mu ggwanga ekya UTOF, Rashid Ssekindi yalagidde nti, tewali mmotoka ekkirizibwa kuddamu kukola siteegi ku luguudo nti, etikkirawo basaabaze.
Yagambye nti, ebifo bye balina mu ppaaka bimala era ddereeva bw’aba asazeewo obutayingira mu ppaaka takkirizibwa kusimba ku luguudo.
Yagambye nti, olutalo lwe balina lwa takisi ne boda boda kubanga abasaabaze bwe balaba nga takisi teziriiwo nga balinnya bodaboda.
“KCCA singa ekwasisa aba bodaboda amateeka kigenda kuyamba abasaabaze okugenda balinnyire mu ppaaka, wabula singa KCCA eremererwa aba bodaboda olwo n’abattakisi bagenda kutikkira ku nguudo,” Ssekindi bwe yagambye.
Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abine yagambye nti, okutereeza ekibuga kirimu n’okukkakkanya ebiwoggana n’emizindaalo ssaako akavuyo mu kibuga naddala ku basuubuzi ababadde bakolera mu bifo ebitakkirizibwa.
Yasiimye abantu abagondedde ebiragiro ne bavaako kyokka n’ategeeza abavuzi b’ebidduka abakyalemeddeko naddala aba bodaboda nabo bagondere amateeka.
Minisita wa Kampala omubeezi Kabuye Kyofatogabye yalagira abatalina we bakolera nga bagobeddwa bagende mu butale bwa KCCA omuli Usafi, Busega, Nakawa, Bugoloobi, Wandegeya n’obulala balinamu ebifo ebikalu ebiwera 2500 ate abasula ebweru wa Kampala waliyo ebifo 1980 nti era KCCA eyamba okuyunga abavubuka ku mitimbagano batundireko ebyamaguzi byabwe.
Ku bavuzi ba ttakisi balagiddwa beewandiise ku siteegi ez’enjawulo eziriwo mu mateeka ate aba takisi bayingire mu ppaaka zonna eziriwo. KCCA yatandise okuzzaawo okusimba omuddo mu kibuga n’okutereeza ebibadde bisobye.