AKULIRA ekibiina kya DP Nobert Mao alangiridde mu butongole okuvuganya ku kifo ky’obwasipiika bwa palamenti mu kisanja eky'omulundi ogw'ekkumi n'ebbiri
Mao abadde ku kitebe ky'ekibiina ky’akulembera ku Balintuma Rd e Mengo n’agamba nti azze oluvannyuma lw’okwogerezeganya n'ekibiina kya NRM
Agamba yamaze okutema empenda okulaba bw’agenda okutwala obuwanguzi buno omuli okwogerezeganya n'ababaka abaawangula nti bw’anaabeera sipiika wa palameti ajjudde ajja kukola obutaweera okulaba nti abantu ba wansi bayambibwako okwekulaakulanya
Akakasizza nga bw’atagenda kutiirira b’agenda kuvuganya nabo kubanga okuva emabega ng’ akula abadde mukulembeze nga ne paalamenti y'omulundi guno okulonda tekugenda kubeera kwagaba nsiimbi wabula kwogera nsonga ezikwata ku banayuganda era akkiriza ebisanyizo byona abirina nga mu mwoyo obuwanguzi buno baabutute dda .
Agamba wiiki eno waakuwandiikira omukulembeze w'eggwanga okumujjukiza ku ndagaano yaabwe n'ekibiina kya NRM wamu n'ababaka abaawangula okubalaga ensonga ezimuleese era ategeezezza nti amateeka ga paalamenti y'eggwanga geetaaga okutereezaamu era bw’awangula ekifo ekyo waakukola ku byonna
Alabudde abaakayingira ekibiina kya NRM nga balowooza nti be bakitegeera ennyo nga baagala okutabangula DP ne NRM n’agamba nti ekyo tebasaanidde kukikola kubanga NRM yava dda nga ekolagana n'ekibiina kino mu by'obufuzi n'olwekyo balina okwegendereza