ABANTU babiri abagambibwa okukukusa eby'amaguzi , bakubiddwa amasasi agasseeko omu n'okulumya omulala.
Bibadde ku kyalo Bulange mu disitulikiti y'e Namutumba, abantu bano, ababadde batambulira mu mmotoka ekika kya Noah n'endala entono, bwe basangiddwa ku kitoogo nga bagezaako okwekweka ab'ekitongole ky'omusolo.
Akubiddwa amasasi agamusse ategeerekese nga Ashiraf Muhinda ate munne Abdallah Ntoogo , amasasi ne gamukwasa ku mikono n'atwalibwa okufuna obujjanjabi.
Omubaka wa gavumenti e Namutumba, Fred Bangu, ategeezezza nti mu kusooka , abatuuze beekengedde abantu bano nga babayita babbi abajaasi abalwanyisa okukusa eby'amaguzi bwe babadde babagoba.
Agasseeko nti , abatuuze babafumbiikirizza ne batandika okubakuba nti mu kavuvung’ano ako, abajaasi ba URA ne bakuba amasasi okugezaako okubataasa nti wano we gabakwatidde ne gatta n'okulumya omu.