ABASIRIKALE b'amakomera basatu bakubiddwa amasasi agabasse e Kiboga.
Abattiddwa, kuliko ASP Hope Catherine amyuka akulira ekkomera eryo, Akishuri Bright ne Sarah Ayebare mukyala w'akulira ekkomera e Kiboga.
Ettemu lino, kigambibwa nti likoleddwa omusirikale w'amakomera nnamba 13544 warder Moses Anguyo bw'abakubye amasasi agabattiddewo , abalala ne badduka ku ssaawa nga 4 leero.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa akulira amakomera mu ggwanga Dr, Johnson Byabashaija nga kuliko omukono gw'omwogezi w'amakomera Frank Baine, Anguyo akyali wabulabe wadde emmundu gy'akozesezza bagizudde.
Agasseeko nti mu kiseera kino, ebitongole ebikuumaddembe ne poliisi, bakyagenda mu maaso n'okumuyigga era n'asaba abeera amulabyeko , okutemya ku bebyokwerinda mu bwangu.