KKOOTI enkulu mu Kampala ewadde Munnamateeka Fred Muwema ekibonerezo ekikambwe omuli okusasula akawumbi kalamba n’obukadde 4000 gattako n’okwamuka ekizimbe kw’alina ofiisi ze eza bannamateeka.
Mu nsala eyaweereddwa omulamuzi Patricia Mutesi owa kkooti ey’Ebyobusuubuzi ku Lwokutaano nga February 20, 2026 Muwema yalagiddwa okwamuka ekizimbe kwalina ofiisi ze eza kkampuni ya bannamateeka eya Muwema & Co Advocates e Kololo ku luguudo Windsor Crescent.
Omusango guno nnamba 0621/2023 Muwema abadde awerennemba nagwo okuva 2023 nga gwamuwawaabirwa kkampuni ya Downtown Investments oluvannyuma lw’okulemererwa okugoberera amateeka ku liizi ey’emyaka etaano
gye yafuna ku kuzimbe.
Muwema yawawaabirwa ne kkampuni eya Muwema & Co Advocates ne Looya Friday Kagoro.
Okusinziira ku ndagaano ne bannanyini kizimbe, Muwema ne banne baalina okusasulanga ddoola 5,000 buli mwezi mu za wano ze shs 17,500,000 wamu n’omusolo ogumanyiddwa nga VAT okumala ekiseera ekigere.
Obutakkaanya obw’amaanyi okusinga bwabalukawo mu mwaka gwa 2019 Muwema bwe yalemererwa okusasula ssente z’obupangisa wamu n’emisoso emirala era kigambibwa nti ne balemesa ne nnanyini kizimbe okutuuka ku kizimbe kye
era ne balaalika okumuggulako emisango naye kye yakola kwe kugenda mu kkooti ebataawulule.
Mu nsala y’omulamuzi Mutesi, yagambye nti kituufu Muwema ne banne baalemererwa okussa ekitiibwa mu byali mu ndagaano ya liizi kale nga balina okusasula ssente z’obupangisa ez’ebbanga lye babaddemu wamu ne ssente endala
ezirabika okuba nga nnyingi ddala.
Mu zino mulimu ddoola 148,300 (eza Uganda obukadde nga 534) zaataasasula nga za bupangisa, ddoola 224,000 (obukadde nga 800 )ez’amagoba wamu n’obukadde 50 obw’okutereeza ebyayonooneka ng’awamu ke kawumbi kamu
n’obukadde 400.
Mu ngeri yeemu era kkooti yawadde ekiragiro aba kkampuni ya Muwema & Co. Advocates okwamuka ekizimbe kino bunnambiro nga tebanaba kusindiikirizibwa. Okwo alina okusasula ne ssente ezikozeseddwa Bannamateeka b’oludda
oluwaabi mu musango guno.
Kyokka okusinziira ku nsonda ezeesigika, kigambibwa nti aba Muwema tebakkiriziganyizza na nsala eno era basuubirwa okujulira mu bbanga eritasukka nnaku 30 nga balumiriza nti obwenkanya tebwatuukiddwako mu nsala eno.