GAVUMENTI yeeyamye okuwnirira abatikkirwa okufuna emirimu ng’eyita munteekateeka zaayo ez’enjawulo okuli eya “Graduate Volunteerism” mwe bassizza abatikkiddwa mu bitongole bya gavumenti n’ebyowannakyewa ebitali bimu nebatandikira omwo obuweereza. Balinawo n’enteekateeka mwebatendekera abantu nga bwe bakola (On job training), PDM n’ebrirala.
Abatikkiddwa nga bajaganya
Wabula nga gavumenti bakimanyi bulungi nnyo nti abagaba emirimu tebasobola kugifunira buli muntu. N’olw’ekyo bakubiriza abatikkirwa okukozesa amagezi gebafuna mungeri ey’obuyiiya naddala nga nga bayita mukwetonderawo emirimu gyabwe.
Ebyo byonna bibadde mu bubaka bwa minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo, Janet Kataha Museveni bw’atisse minisita w’ebyenjigiriza ebya ebya wansi (State minister for primary education), Dr. Joyce Moriku Kaduce ku matikkira ga Univasite y’e Makerere ag’omulundi ogw’e 76.
Amatikira ga Makakerere ag’omulundi guno gaatandise leero ku Lwokubiri gakomekkerezebwe ku Lwokutaano. Okwawukanako n’emyaka esatu egiyise mwebabadde bakozesa ennaku ttaano okutikkira abayizi, kuluno bagenda kukozesa ennaku nnya zokka.

Cancala University Dr Kiyonga ng'oli ku mukolo gw'amatikkira
Ku bayizi abaatikiddwa leero kuliko abaakuguse mu bya kompyuta ne tekinologiya, abasomesa, abakuguse mu by’amateeka, eby’obulambuzi, eby’obulimi n’obulunzi n’abalala.
Omuggatte ogw’abayizi abatikkiddwa ku mulundi guno gukendedde bw’ogugeraageranya n’ab’omwaka oguwedde. Omwaka oguwedde baatikiira abayizi 13,658, atenga kumulundi guno, amyuka cansala wa Yunivasite y’e Makerere, Polof. Barnabas Nawangwe yagambye abayizi 9295 be bagenda okutikkirewa. Ku bano kuliko abawala 4262 n’abalenzi 5033.
Abayizi 213 be bagenda okutikkirwa diguli ey’okusatu, eranga guno gwe muwendo gw’abayizi ba ddiguli ey’okusatu ogugenda okubeera nga gwe gukyasinza okubeera omunnene okutikkirwa mu byafaayo bya Makerere. Bw’ova kw’abo abayizi 2503 be bagenda okufuna ddiguli eyokubiri, 6343 bafune esooka, ate 30 batikkirwe dipuloma.

Amyuka Cancala wa Makerere Nuwangwe ng'ayogera ku mukolo gw'amattikkira
Cansala wa Yunivasite y’e Makerere Dr. Crispus Kiyonga y’akakasizza diguli z’abayizi bano, n’akubiriza abanaabeera bafunye emirimu okwekaliriza embeera n’enkola y’okumirimu wamu n’okubeera abawulize. Yabasabye n’okukwatagana nebannaabwe baleetere wamu ebirowoozo ebivaamu obuyiiya n’okukola buzinensi oba ebintu ebitundibwa.
Mu buwufu buno bwe nnyini, ye akulira ekkanisa y’Abakulisitaayo ey’e Makerere eya St. Francis Chapple, Rev. Dr. Lydia Kitayimbwa asabye abatikkiddwa okwewala okwenyigira mu bikolwa eby’obuli bw’enguzi.