Amawulire

Bannakyewa bakwataganye n'abakulembeze b'e Kalangala okukyusa embeera z'abantu

OMUWENDO gw'abaana abafuna embuto mu disitulikiti y'e Kalangala gusse okuva ku bitundu 32% okutuuka ku 19%. Emisango gy’obutabanguko mu maka nagyo gisse okuva ku bitundu 60% okutuuka ku 20%  naddala mu bawala n’abakyala abali wakati w’emyaka 15–49. Emisango gy'okukwata abaana abali wansi w'emyaka omukaaga kati gikola ebitundu 15%  ate abali wakati w'emyaka 14-17 babadde ku bitundu 26% nga mu kiseera kino bali ku 22%.

Abawala 74 baabaweerezza mu matendekero g'ebyemikono
By: Ritah Mukasa, Journalists @New Vision

OMUWENDO gw'abaana abafuna embuto mu disitulikiti y'e Kalangala gusse okuva ku bitundu 32% okutuuka ku 19%. Emisango gy’obutabanguko mu maka nagyo gisse okuva ku bitundu 60% okutuuka ku 20%  naddala mu bawala n’abakyala abali wakati w’emyaka 15–49. Emisango gy'okukwata abaana abali wansi w'emyaka omukaaga kati gikola ebitundu 15%  ate abali wakati w'emyaka 14-17 babadde ku bitundu 26% nga mu kiseera kino bali ku 22%.

Ebitundu ebisinze okukosebwa embeera eno mulimu amagombolola g’e Bufumira ne Mugoye. 

Dorothy Nanteza yeebazzizza aba Heroes okuweerera muwala we Mariah Nakigozi okusoma ebyenviiri. Nanteza yazaala abaana mwenda ebyembi omusanvu ne bafa era essuubi limuli ku Nakigozi

Dorothy Nanteza yeebazzizza aba Heroes okuweerera muwala we Mariah Nakigozi okusoma ebyenviiri. Nanteza yazaala abaana mwenda ebyembi omusanvu ne bafa era essuubi limuli ku Nakigozi

Alipoota eno yasomeddwa Willy Nkumbi akulira eby’embeera z’abantu mu disitulikiti y'e Kalangala awamu ne  Lucy Athieno  akulira eby’okulondoola emirimu n’ebyensomesa mu kitongole kya MIFUMI ekitakabanira eddembe ly'abakyala. Baabadde ku mukolo Fred Badda RDC w'e Kalangala kweyasiibulidde abawala 74 abaasindikiddwa mu matendekero g'ebyemikono ag'enjawulo nga bayambibwako aba Heroes for Gender Transformative Action Program (Heroes 4GTA) .

Abawala 74 abaazaala nga bato mu disitulikiti y’e Kalangala ssaako n'abaasimattuka obutabanguko mu maka baafunye  omukisa okudda ku ssomero nga bayambibwako      Heroes 4GTA omuli obwakabaka bwa Netherlands, embasse ya Iceland, Amref Health Africa, Cordaid ne MIFUMI, ekitongole ekitakabanira eddembe ly’abakyala mu Uganda. 

Fred Badda, RDC w'e Kalangala

Fred Badda, RDC w'e Kalangala

Abawala bano nga bava mu magombolola ag’enjawulo baatwaliddwa mu masomero g’ebyemikono mu disitulikiti y’e Masaka ne Kyotera. 
Bagenda kusoma ebyenviiri, okutunga, ebya kkompyuta n’ebyamazzi (plumbing).

Willy Nkumbi akulira eby'embeera z'abantu e Kalangala

Willy Nkumbi akulira eby'embeera z'abantu e Kalangala

Badda yategeezezza nti Kalangala erimu ebizibu bingi naddala obutabanguko mu maka, endwadde ya mukenenya n’okukabassanya abaana ng’ebisinga biva ku bulagajjavu bw’abavubi, ettamiiro, okukozesa ebiragalalagala n’obwavu. 
Wabula yagambye nti omukago gwa Heroes 4GTA guyambye nnyo okukendeeza ebizibu ebyo mu myaka omukaaga gye bamaze e Kalangala.