OLUPAPULA lwa Bukedde nga lukolaganira wamu n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku matendekero ag’ebyemikono n’emirimu gy’omu mutwe ekya Technical Vocational Education and Training (TVET), bakuleetedde enteekateeka egenda okujuna omwana eyakoze P.7 ne S.4, nga mu kiseera kino tasobola kweyongerayo mu nsoma eya bulijjo.
Ku Lwokutaano lwa wiiki eno, Bukedde akuleetedde ettu omuli amatendekero gonna omwana gy’asobola okufuna ekifo, gye gasangibwa, ebisaanyizo bye geetaaga ne kalonda yenna.
Omukung’aanya wa Bukedde, Michael Mukasa Ssebbowa yagambye nti mu ttu lino, Bukedde agenda kukuwa amatendekero agalina bbasale, omuyizi gy’asobola okusomera ng’asasula kitono oba obutasasulira ddala.
Bukedde ne TVET era bagenda kukulaga amasomo agali mu matendekero ago, n’obukugu omuyizi bw’anaavaayo nabwo okuyingira ensi y’emirimu. Weekwate Bukedde w’oku Lwokutaano nga February 27, 2026 agenda okukulambululira enteekateeka eno mu bujjuvu, ku nnusu 1,000/- zokka.