EKIKANGABWA kigudde ku ssomero omuyizi bw’asangiddwa mu kisulo ng’afudde. Vanessa Nakayemba,10, ng’abadde asoma P4 ku Royal’s Ark Nursery and Primary School e Lukaya ye yasangiddwa ng’afiiridde mu kisulo ku Lwokubiri akawungeezi, ekyatabudde abazadde n'abatuuze.
George William Jjunju, taata w'omwana, wakati mu kiyongobero, yategeezezza nti abadde yaakamala wiiki bbiri zokka ng'amuzzizzaayoku ssomero.
Wabula yalaze obutali bumativun'engeri ab’essomero gye baamubikiddemu gye yagambye nti ereeta ebibuuzo ku nfa y'omwana we.
Yagambye, baasoose kumutegeeza nti omwana azirise, oluvannyuma ne bakyusa nti yavudde ku katanda n’agwa. Jjunju yeegattiddwaak aba ffamire abalala okuli Agnes
Namirembe ne bagamba nti enfa y'omwana yabasobedde kuba ab'essomero baabategeezezza nti yafiiridde mu ddwaaliro nti kyokka eddwaaliro ligamba nti we baamutwaliddeyo yabadde mufu.
Baasabye be kikwatako banoonyereze. Omubaka wa Pulezidenti e Kalungu, Seif Katabaazi yatuuzizza olukiiko lw'ebyokwerinda ku Lukaya Town Council n’ategeeza nti baasazeewo essomero okugira nga liggalwa kuba teryabadde na bisaanyizo bya kisulo. Yagasseeko nti, bakyalinda lipoota y’omusawo ku nfa y’omwana n'agumya abazadde nti bajja kumanya ekituufu ng’okuziika tekunnabaawo. Bukedde we yatuukidde
ku ssomero lino, nga ggeeti ebisiddwaako ekijegere nga waliwo n’abaserikale okunyweza ebyokwerinda. Oluvannyuma poliisi omulambo yagukwasizza aba ffamire ne gutwalibwa e Birongo mu ggombolola y'e Lwabenge okuziika.