ABANTU bataano, bafiiridde mu kinnya nga basima zaabu , ettaka bwe libumbulukuse , ne libabikka.
Bibadde mu kirombe ku kyalo Kayaga mu muluka gw'e Kibazi mu Ggombolola y'e Kyamuhunga mu disitulikiti y'e Bushenyi ku ssaawa nga Mwenda olweggulo.
Abafudde, kuliko Saul Namanya 35 , Julius Mujurizi 45, Stuart Akanyamba Kokyenga 16, Anthony Nuwagaba 20 ne Sansio Twijukye 32.
Kigambibwa nti bana ku bagenzi babadde batuuze mu kitundu ekyo kyokka nga ye Nuwagaba abadde ava Bunyaruguru mu disitulikiti y'e Rubirizi.
Omwogezi wa poliisi mu greater Bushenyi , Apollo Tayebwa, ategeezezza nti , babadde bakozesa byuma byabulijjo nga basima era nga tebalina layisinsi ebakkiriza kusima zaabu.
Agasseeko nti poliisi ng'eri wamu ne Ankole regional Mineral Protection police , bakyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku ngeri gye bafuddemu.