Amawulire

OMUVUBUKA ow'emyaka 29 agambibwa okusobya ku mwana ow'emyaka 5 akwatiddwa e Mbale

OMUVUBUKA ow'emyaka 29 agambibwa okusobya ku mwana ow'emyaka 5, akwatiddwa poliisi e Mbale.

OMUVUBUKA ow'emyaka 29 agambibwa okusobya ku mwana ow'emyaka 5 akwatiddwa e Mbale
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

OMUVUBUKA ow'emyaka 29 agambibwa okusobya ku mwana ow'emyaka 5, akwatiddwa poliisi e Mbale.

Fred Wanambwa 29 amanyiddwa nga Mukute omutuuze ku kyalo Shamukama mu muluka gw'e Bunamubi mu Ggombolola y'e Bukigai mu disitulikiti y'e Buduuda, y'akwatiddwa.

Kigambibwa nti omwana ono, bazadde be baabadde bamulese awaka nti naye enkuba n'etandika okutonnya, kwe kugenda ewa Wanambwa okugyeggama nga kigambibwa nti eyo , gye yamusoberezzaako.

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategeezezza nti , wabaddewo obulagajjuvu ku ludda lwa jjajja w'omwana eyamuleseewo yekka n'agenda okusaba.

Avumiridde ekikolwa kino era n'agamba nti omwana abasawo bamukebedde ne bakikakasa nga yasobezeddwako